Munnayuganda asitula obuzito yeewera kuwangula mpaka z’ensi yonna.

Munnayuganda asitula obuzito yeewera kuwangula mpaka z’ensi yonna.

ROY Mubiru Munnauuganda omusituzi w’obuzito mu Amerika yeeweze okusitukira mu mpaka z’ensi yonna eza ‘World Strong Man’ mw’agenda okuttunkira ne banne abasoba mu 100. Mubiru yayingidde dda okutendekebwa okwa buli lunaku ku Parades Gym esangibwa mu kibuga Boston mu Amerika. Empaka za ‘World Strong Man’ zaakuyindira mu kibuga Massachusetts ekya merika mu September w’omwaka guno.

ROY Mubiru Munnauuganda omusituzi w’obuzito mu Amerika yeeweze okusitukira mu mpaka z’ensi yonna eza ‘World Strong Man’ mw’agenda okuttunkira ne banne abasoba mu 100.

Mubiru yayingidde dda okutendekebwa okwa buli lunaku ku Parades Gym esangibwa mu kibuga Boston mu Amerika.

Empaka za ‘World Strong Man’ zaakuyindira mu kibuga Massachusetts ekya merika mu September w’omwaka guno.

Bino we bijjidde nga Mubiru yaakawangula omudaali gwa zaabu mu mpaka z’okusitula obuzito eza Anorld Classics ezaategekeddwa Arnold Schwarzenegger, nnakinku mu kuzannya firimu nga yazannyako n’omuzannyo guno kwossa ogw’emifumbi.

Muza Anorld Classics Mubiru yawangulidde mu buzito bwa ‘Heavy’ ku mutendera gwa ‘Dead Lift’ muza abali wakati w’emyaka 43-48 bwe yasitudde kiro 840.

Kyamufudde Munnayuganda asoose okuwangula zaabu mu mpaka zino.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *