Munnayuganda Muzamiru Kakande akubye owa Bosnia n’amuleka ng’aboloogera mu lingi

Munnayuganda Muzamiru Kakande akubye owa Bosnia n’amuleka ng’aboloogera mu lingi

Muzamiru Kakande aggundira enguumi e Girimaani ayongedde okulaga bw’atali waakusaaga bw’awumizza munnansi wa Bozinia Nerdin Fejzovic gw’akubye tonziriranga. Yakubye Nerdin Fejzovic namuleeka ng’abaoologera mu miguwa ekyawalirizza ddifiri okusazaamu olulwana luno olwabumbugidde ku ‘Infinity Hotel & Conference Resort’ esangibwa mu kibuga Munich ekya Girimaani. Ababiri battunkidde mu buzito bwa ‘Super welter weight’ nga Omubozinia akutukidde mu

Muzamiru Kakande aggundira enguumi e Girimaani ayongedde okulaga bw’atali waakusaaga bw’awumizza munnansi wa Bozinia Nerdin Fejzovic gw’akubye tonziriranga.

Yakubye Nerdin Fejzovic namuleeka ng’abaoologera mu miguwa ekyawalirizza ddifiri okusazaamu olulwana luno olwabumbugidde ku ‘Infinity Hotel & Conference Resort’ esangibwa mu kibuga Munich ekya Girimaani.

Muzamiru Kakande ng’afukamizza Fejzovic

Ababiri battunkidde mu buzito bwa ‘Super welter weight’ nga Omubozinia akutukidde mu lawundi yaakuna.

Kasim Ouma eyali nnakinku mu ggunda enguumi yoomu ku batendeka Kakande mu kampuni ya ‘Petkos Boxing Promotions’ eye Girimaani bombi gye bakasiba.

Luno lubadde lulwana lwe lwakubiri mu bikonde bya pulofesono nga n’olwasooka yaluwangulira ku kikonde tonziriranga bwe yakuba Ivica Gogogsevic munnansi wa Croatia.

Waakuda mu miguwa mu July w’omwaka guno.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *