Munnayuganda Yassin Nasser afunye obubonero obusooka ku ngule y’e Tanzania .

Munnayuganda Yassin Nasser afunye obubonero obusooka ku ngule y’e Tanzania .

Yassin Nasser Munnayuganda omuvuzi w’emmotoka z’empaka akubye akaggi ku ngule y’eggwanga lya Tanzania bw’afunye obubonero obusooka n’awera okulwana ppaka ku ssaawa esembayo. Atlantic Rally of Iringa Tanzania Sandhu Gurpal 1:34:20 Birdi Randeep 1:34:55 Deere Harinder 1:35:08 Yassin Nasser 1:35:33 Dharam Pandya 1:3826 Ku wiikendi ya May 21 – 22, 2022, Nasser yamalidde mu kifo kyakuna

Yassin Nasser Munnayuganda omuvuzi w’emmotoka z’empaka akubye akaggi ku ngule y’eggwanga lya Tanzania bw’afunye obubonero obusooka n’awera okulwana ppaka ku ssaawa esembayo.

Atlantic Rally of Iringa Tanzania

  • Sandhu Gurpal 1:34:20
  • Birdi Randeep 1:34:55
  • Deere Harinder 1:35:08
  • Yassin Nasser 1:35:33
  • Dharam Pandya 1:3826

Ku wiikendi ya May 21 – 22, 2022, Nasser yamalidde mu kifo kyakuna mu mpaka za ‘Atlantic Rally of Iringa Tanzania’ ez’omulundi ogwokubiri ku kalenda y’engule ya Tanzania ey’emmotoka z’empaka bwe yavugidde essaawa 1:35:33 n’akung’aanya obubonero 19 obusookedde ddala.

Sizoni eno (2022) Nasser yasalawo okuvuganyiza ku ngule y’eggwanga lya Tanzania (Tanzania National Championship) wabula omwezi oguwedde teyatandika bulungi bwe yawanduka mu za ‘Atlantic rally of Morogoro 2022’ ezaggulawo kalenda ya Tanzania.

Mu Subru Impreza GVB ne Ali Katumba amusomera maapu mmotoka yaabwe yakutuka akakono ka ddyo wakati mu siteegi esembayo gye baali bakulembedde nga babuzaayo obutikitiki butono okulangirirwa ku buwanguzi.

“Okuvuganya kungi mu Tanzania, emmotoka abasinga bali nsajja naye ekinsanyusizza nti tumazeeko ate bifo ebina ebisooka, tugenda kugezaako okwekuumira mu bifo ebyokumwanjo mu buli mpaka okusobola okumalira awasava ku nkomerero ya sizoni,” Nasser bwe yategeezezza.

Nasser kyampiyoni w’engule y’eggwanga (NRC) 2019, agattako nti mu Uganda waakwetaba mu mpaka ntono ddala, okusanyusaamu abawagizi be wabula amaanyi waakugateeka ku ngule y’Africa (ARC) n’eya Tanzania.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *