Musoke omutendesi wa Makerere University Eagles alina essuubi .

Musoke omutendesi wa Makerere University Eagles alina essuubi .

Uganda Baati National Hockey League. MAK Women 1-1 Weather head Gazelles Rockets 2-0 KHC Originals MUB 0-20 Wananchi Kapiteeni wa Makerere University Eagles eya hockey, Racheal  Atim akunze bazannyi banne okulwana bamaleko sizoni bulungi. Liigi ya hockey eneetera okukomekerezebwa era Makerere University Eagles yawongeddemu amaanyi kubanga eyagala okwetegekera obulungi  empaka za Eastern African University games’.

Uganda Baati National Hockey League.

MAK Women 1-1 Weather head Gazelles

Rockets 2-0 KHC Originals

MUB 0-20 Wananchi

Kapiteeni wa Makerere University Eagles eya hockey, Racheal  Atim akunze bazannyi banne okulwana bamaleko sizoni bulungi.

Liigi ya hockey eneetera okukomekerezebwa era Makerere University Eagles yawongeddemu amaanyi kubanga eyagala okwetegekera obulungi  empaka za Eastern African University games’.

Nga twetegekera empaka za East African University eziribeerawo mu December ,tulina okulwana okulaba nga buli ttiimu gye tutwala ebeera y’amaanyi’’,Atim yayongeddeko.

Bino Atim yabyogedde baakamala  okukola amaliri (1-1)  ne Weatherhead Gazelles ku Lwomukaaga .Aba Makerere Lydia Akimo ye yabateebedde mu kitundu ekisooka era wano baayongezza ku nnumba wadde nga ggoolo zaabuze.Anita Atim, ye yateebedde Weathead Gazelles ey’ekyenkanyi.

Dulf Musoke omutendesi wa Makerere University Eagles alina essuubi nti ttiimu ye ejja kukola bulungi mu mpaka za  yunivasite ez’amawanga agava mu buvanjuba bwa Afrika.

Weatherhead Gazelles kati eri mu kyakuna n’obubonero 14 ate nga Makerere University Eagles y’esembye n’obubonero 3. Deliverance Church of Uganda (DCU) y’ekulembedde liigi y’abakazi n’obubonero 38 nga Wananchi eyawangula sizoni ewedde yaakubiiri n’obuboero 37.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *