Mutabani w’omuvuzi z’emmotoka ‘Super Lady’ Susan Muwonge, Filbert Muwonge y’omu ku bawuzi abavuganyizza mu mpaka z’okuwuga ez’amasomero ga pulayimale eza Uganda Swimming Federation Primary Championships ez’omulundi ogwomunaana nga zaabadde ku ssomero lya Green Hill Academy e Kibuli ku Lwomukaaga. Filbert Muwonge ow’emyaka omwenda yabadde avuganyiza mu mutendera gw’emyaka egyo nga yamalidde mu kya 10 bwe yakung’aanyizza
Mutabani w’omuvuzi z’emmotoka ‘Super Lady’ Susan Muwonge, Filbert Muwonge y’omu ku bawuzi abavuganyizza mu mpaka z’okuwuga ez’amasomero ga pulayimale eza Uganda Swimming Federation Primary Championships ez’omulundi ogwomunaana nga zaabadde ku ssomero lya Green Hill Academy e Kibuli ku Lwomukaaga.
Filbert Muwonge ow’emyaka omwenda yabadde avuganyiza mu mutendera gw’emyaka egyo nga yamalidde mu kya 10 bwe yakung’aanyizza obubonero 25.
Muwonge nga muvuzi wa ddigi, guno gwe gubadde omulundi gwe ogusooka okuvuganya mu muzannyo gw’okuwuga ku mutendera gw’eggwanga nga ne nnyina yalabiddwaako ng’amuwangira wakati mu ssanyu.
Susan Muwonge yaliko kyampiyoni w’eggwanga mu mmotoka z’empaka mu mwaka gwa 2011 ne 2018 yategeezezza nti mutabani we yakula yeegomba omuzannyo gw’okuwuga era nga ku ssomero abadde yeetaba nnyo mu kuvuganya okw’enjawulo wabula nga ku mulundi guno baasazeewo ajje avuganye mu z’eggwanga.

“Emizannyo gino gyombi okuwuga n’okuvuga pikipiki bya muwendo nnyo mu bulamu bwa mutabani wange. Wabula nga omuzadde buvunaanyizibwa bwange okulaba nti akulembeze emisomo gye. Ebyemizannyo tubigendamu ku wiikende era nga wiikendi emu bwe tubeera mu kuwuga eddako tuba mu kuvuga piki piki,” Muwonge bwe yategeezezza.
Filbert Muwonge ow’emyaka omwenda muyizi ku ssomero lya City Parents nga ye kyampiyoni w’omutendera gwa ddigi ogwa CC50 Pewee omwaka oguwedde nga guno omwaka waakuvuganyiza mu mutendera gwa CC65.
Empaka zino ez’okuwuga ez’amasomero ga pulayimale zaawanguddwa Green Hill Academy n’obubonero 1243, Kampala Junior Academy yakutte kyakubiri n’obubonero 816 nga Pax Junior School Kira yakutte kyakusatu n’obubonero 672.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *