Mutalaga Chrismas Cup; Kibalaza FC ewandudde Hared Bodaboda Stage FC.

Ttiimu ya Kibalaza FC ewandudde Hared Bodaboda Stage FC mu mpaka aba Hared ze baludde nga beesunga nti ku mulundi guno ekikopo ebadde egenda nakyo mu mpaaka ezibadde eza vvaawompitewo ezaayindidde ku kisaawe ky’e Lweza. Empaka zino eziwomeddwaamu omutwe omugagga w’ekyalo Lweza, Mutalaga era nga zaatuumibwa Mutalaga Chrismas Cup. Zaatandika mu mwezi gwa September nga

Ttiimu ya Kibalaza FC ewandudde Hared Bodaboda Stage FC mu mpaka aba Hared ze baludde nga beesunga nti ku mulundi guno ekikopo ebadde egenda nakyo mu mpaaka ezibadde eza vvaawompitewo ezaayindidde ku kisaawe ky’e Lweza.

Empaka zino eziwomeddwaamu omutwe omugagga w’ekyalo Lweza, Mutalaga era nga zaatuumibwa Mutalaga Chrismas Cup.

Zaatandika mu mwezi gwa September nga 5 ne ttiimu 56 ezizze ziwanduka nga kati basigazza ttiimu 4 nga ne Hared yavuddeko balinze ndaala evaako kusigaleko biri ezinetaba muzakamalirizzo ku Ssekukkulu.

Ku zirindiddwa okuvaako enaazannya Kibalaza FC ku fayinolo kwe kuli South Africa FC e Sseguku ne Lweza FC. Omuwanguzi waakusitukira mu kikopo, ente, akakadde k’ensimbi, embuzi bbiri , emidaali n’emijoozi.

Wabula enaakwata eky’okubiri  nayo egenda kuwangula ente , ekikopo, emitwalo 50, embuzi emu, emidaali, wamu n’emijoozi.

Saulo Kakooza nga ono ye Ssetebe wa Hared fc agamba empaka zino tuze tuzetabamu emyaka munana naye nga tetuwangula era tubadde tumanyi kumulundi guno ffe abatwala ekikoppo ekintu ekitasobose nga Kibalaza yabawangulidde ku ggoolo 5 ku 4 nga zino zonna zabadde zakusimuligana penati.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *