Olulwana luno olwa ABU Africa Super Lightweight title elimination fight lwe lubadde lusalawo abagenda okuttunkira omusipi guno mu April w’omwaka guno. Muwonge ng’ono muto w’omuyimbi Young Mulo attunse ne Mbukwa ku ‘The New Club Obligato’ mu Kampala. Olulwana luno lubadde lwa lawundi 8. Muwonge eyazannyirako ttiimu y’eggwanga ‘The Bombers’ wakati wa 2016 ne 2018 yafukiridde
Olulwana luno olwa ABU Africa Super Lightweight title elimination fight lwe lubadde lusalawo abagenda okuttunkira omusipi guno mu April w’omwaka guno.
Muwonge ng’ono muto w’omuyimbi Young Mulo attunse ne Mbukwa ku ‘The New Club Obligato’ mu Kampala.
Olulwana luno lubadde lwa lawundi 8.
Muwonge eyazannyirako ttiimu y’eggwanga ‘The Bombers’ wakati wa 2016 ne 2018 yafukiridde Mbukwa enguumi ezabuze okumuddusa mu miguwa.
Muwonge yawangulidde ku bubonero 80-72, 80-72 ne 79-72 okusinziira ku balamuzi.

Nga yakawangula Mbukwa, Muwonge awanze omuliro nti wakwongera okukuba buli amwepikira mu buzito buno okutandiikira ku bannansi bane kwogata abazungu.
Luno lubadde lulwana lwe lwa 7 mu bikonde eby’ensimbi bye yatandiika mu 2019 zonna zaawangudde.
Mu 2021 yasitukira mu National Lightweight title songa omwaka oguwedde yawangudde ogwa World Boxing Federation (WBF) East and Central Africa Lightweight title.
Ennwana zino zaategekddwa ‘Great Strikers International Boxing Promotions’ nga mu ndala Salima Tebesigwa yakubye Racheal Musubiika mu buzito bwa bantam kiro 56, Jjunju Power yakubye Muhammad Kasagga (lightweight), Saddam Sserwadda n’akuba Franco Makoba (lightwelter) kiro 63 songa Justine Okello omujaasi wa Special Forces (SFC)’s yawangudde Frederick Okou mu buzito bwa feather kiro 58.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *