OMUGGUNZI w’enguumi Latib Muwonge ‘Dancing Master’ ayongedde okugwa mu bintu ABU (Africa Boxing Union) ekibiina ekitwala ebikonde mu Afrika bwe kifulumizza ensengeka empya ne kimuteeka mu kya 7 mu buzito bwa Super Light. Mu nsengeka empya Muwonge kati akwata kya 7 mu Afrika mu baggunzi b’enguumi abasinga okwokya kati. Mu kifo kino ABU emutadde ku
OMUGGUNZI w’enguumi Latib Muwonge ‘Dancing Master’ ayongedde okugwa mu bintu ABU (Africa Boxing Union) ekibiina ekitwala ebikonde mu Afrika bwe kifulumizza ensengeka empya ne kimuteeka mu kya 7 mu buzito bwa Super Light.
Mu nsengeka empya Muwonge kati akwata kya 7 mu Afrika mu baggunzi b’enguumi abasinga okwokya kati.
Mu kifo kino ABU emutadde ku bubonero 2,160 mu nsi yonna akawaata kifo kya 117 songa ye namba emu wa Uganda mu buzito buno.
Muwonge okulinnya mu nsengeka emyaka avudde mu kifo kya 10.

Obuwanguzi buno buvudde ku kya kuwangula musipi gwa Afrika ogwa ABU Africa Super Lightweight nga March 10 omwaka guno mu lulwana olwabumbujjidde ku New Club Obligato mu Kampala.
Mu lulwana luno Muwonge yaggunze Omutanzania Clement Albano enguumi ezaamulese ng’alaba Bazungu abambadde obukookolo.
Muwonge ng’ono muto w’omuyimbi Young Mulo yazannyirako ttiimu y’eggwanga ‘The Bombers’ wakati wa 2016 ne 2018.
Awamu yaakazannya ennwana 9 eza pulofesono zonna zaawangudde.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *