Muwonge aweze okutuusa ekyokya ku Mutanzania Hamis.

Muwonge aweze okutuusa ekyokya ku Mutanzania Hamis.

Latib Muwonge. Omuggunzi w’eng’uumi Latib Muwonge ‘The Dancing Master’ aweze okutuusa ekyokya ku Mutanzania Hamis Ally bwe banaaba battunka ku Lwomukaaga. Muwonge eyazannyirako ttiimu y’eggwanga ‘The Bombers’ wakati wa 2017 ne 2019 waakulya matereke ne Hamis mu lulwana olusuubirwa okuba olw’obunkenke ku Club Obligatto mu Kampala. Bali mu buzito bwa ‘Junior Welter Weight’ laawundi 8.

Latib Muwonge.

Omuggunzi w’eng’uumi Latib Muwonge ‘The Dancing Master’ aweze okutuusa ekyokya ku Mutanzania Hamis Ally bwe banaaba battunka ku Lwomukaaga.

Muwonge eyazannyirako ttiimu y’eggwanga ‘The Bombers’ wakati wa 2017 ne 2019 waakulya matereke ne Hamis mu lulwana olusuubirwa okuba olw’obunkenke ku Club Obligatto mu Kampala. Bali mu buzito bwa ‘Junior Welter Weight’ laawundi 8. Muwonge asabye Omutanzania ajje mu lulwana luno ng’amaze kulaama kuba waakumupakira ebikonde ebiringa amazzi ajulirire n’okudduka mu miguwa.

Luno lulwana lwa Muwonge lwamukaaga mu bikonde eby’ensimbi era nga tannakubwa.

Yasembye kukuba Munnakenya Goerge Owano mu lulwana olwabaddewo mu August w’omwaka guno ekyamuyambye okusitukira mu musipi gwa ‘East and Central Junior welter weight title’.

Ku lulwana lwe lumu, Ivan Magumba waakwabika ne Vincent Makuso mu buzito bwa middle, Fahad Mayombo ne Tonny Ssendijja mu bwa ‘super welter’, Amid Daku ne Denis Lukwago mu ‘light’ kwossa ennwaana endala.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *