Nadal kati aleebya Federer ne Djokovic mu ngule za ttena. Alina engule ez’omuzinzi (Grand Slam) 22 ate bo balina 20 buli omu. Omuspana Rafael Nadal yayongedde okufuuka omuteego mu kisaawe kya ttena bwe yawangudde engule ye (Grand Slam) eya 22 ku Ssande. Yawangudde Casper Ruud enzaalwa ya Norway (6-3, 6-3, 6-0) mu mpaka za French
Nadal kati aleebya Federer ne Djokovic mu ngule za ttena. Alina engule ez’omuzinzi (Grand Slam) 22 ate bo balina 20 buli omu.
Omuspana Rafael Nadal yayongedde okufuuka omuteego mu kisaawe kya ttena bwe yawangudde engule ye (Grand Slam) eya 22 ku Ssande. Yawangudde Casper Ruud enzaalwa ya Norway (6-3, 6-3, 6-0) mu mpaka za French Open ne yeenywereza ku ntikko y’abasinze okuwangula engule mu muzannyo guno.
Nadal, yaakwangula engule ya French Open enfunda 14 sso ng’era engule eno yayongedde okumussa ku ntikko nga kati asinga Novak Djokovic ne Roger Federer engule bbiri. Bombi baakawangula engule ennene 20 ate Nadal kati ali ku ngule 22. Guno gwabadde mulundi gwa 112 nga Nadal awangula omuzannyo gwonna mu French Open.
Guno gwabadde mulundi gwa Ruud akwata ekyomunaana mu nsi yonna ogusoose okutuuka ku fayinolo ya French Open era yabadde n’essuubi okukuba Nadal kyokka byamulemye. Ruud yaggyamu Marin Cilic ku semi era omutindo gwe yayolesa ku mulundi ogwo, bangi gwe baabadde bamusuubira okuleeta. Mu ngeri y’emu, Nadal yaggyamu Alexander Zverev enzaalwa ya Girimaani.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *