Nagagga sir jim ratcliffe nga ayita mu emu ku kampuni ze eya ineos alaze obwetavu mu kugula ttiimu yaManchester united esambira mu liigi ya bungereza. Mu mwezi ogwa museenene mu mwaka gwa 2022,ba nannyini ttiimu ya man u aba glazers family bategeeza nga bwebasobola okutunda ttiimu eno eriajirinamu obwetaavu.Ratcliffe akwata kya 27 mu basinga obugagga
Nagagga sir jim ratcliffe nga ayita mu emu ku kampuni ze eya ineos alaze obwetavu mu kugula ttiimu ya
Manchester united esambira mu liigi ya bungereza. Mu mwezi ogwa museenene mu mwaka gwa 2022,
ba nannyini ttiimu ya man u aba glazers family bategeeza nga bwebasobola okutunda ttiimu eno eri
ajirinamu obwetaavu.
Ratcliffe akwata kya 27 mu basinga obugagga mu uk era nga abalirirwamu obuwumbi obwa pawundi

- Ono okuva obuto bwe awagira ttiimu ya man u era nga guno agulaba nga mukisa ogwokwefunira
ttiimu ey’omupiira kubanga gyebuvuddeko yagezaako okugula Chelsea ku buwumbi 4 obwa pawundi
naye ensimbi yaziteekayo nga obudde buyise.
Ratcliffe nga ayita mu kampuni ye eya ineos, alina ttiimu z’omupiira zeyagula edda okuli nice eya france,
Lausanne eya Switzerland, ate nga erina n’endagano ne ttiimu ya Mercedes mu formula one. Ratcliffe
gyebuvuddeko yasisinkanako joel ne avram glazer naye ddiiru negwa butaka era nga weyawulira nti
batunda, kuluno ayagala ayimukiremu.
Kinajjukirwa nti ba glazer bagula man u mu 2005 wabula nga okuva mu mwaka gwa 2013 omutendesi sir
alex ferguson weyayabulira ttiimu eno, man u yakka mu mutindo era nga n’omwaka oguwedde,
abawagizi beegugunga era kino nekireetera aba glazer okwagala okutunda ttiimu eno. Man u ssi
yettiimu yokka eri ku katale, naye ne kirabbu ya Liverpool, banagagga baayo aba fenway sports group
balaze nga webamaliridde okutunda ttiimu eno olw’ebizibu bye tubiddemu ebikwanaganya n’omutindo
omubi gwerina ensangi zino.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *