Nakaayi awagudde eja 800 mmita

Nakaayi awagudde eja 800 mmita

Munnayuganda omuddusi w’embiro ennyimpi eza mmita 800 Halima Nakaayi omwaka guno gulabise okumutambulira obulungi oluvannyuma lw’okuwangula embiro za mmita 800 mu misinde gya Meeting Metz Moselle egyabadde mu kibuga Metz ekya Bufalansa. Mmita 800 Nakaayi yaziddukidde eddakiika emu ne sekonda 59 n’obutundu 18 nga yaddiriddwa Lorea Ibarzabal enzaalwa ya Spain mu ddakiika bbiri ne sekonda

Munnayuganda omuddusi w’embiro ennyimpi eza mmita 800 Halima Nakaayi omwaka guno gulabise okumutambulira obulungi oluvannyuma lw’okuwangula embiro za mmita 800 mu misinde gya Meeting Metz Moselle egyabadde mu kibuga Metz ekya Bufalansa.

Mmita 800 Nakaayi yaziddukidde eddakiika emu ne sekonda 59 n’obutundu 18 nga yaddiriddwa Lorea Ibarzabal enzaalwa ya Spain mu ddakiika bbiri ne sekonda emu ate Munnakenya Naomi Kobirir yamalidde mu kyakusatu.

Nakaayi oluvannyuma lw’okuwangula  empaka zino  alangiridde  nga omwaka guno bw’agenda okukola  ennyo okulaba nga awangula emidaali mu mpaka ezenjawulo.

Nakaayi yasinzidde ku mukutu gwe ogwa Facebook ne yeebaza Katonda olw’obuwanguzi bwe yatuuseeko mu mpaka zino.

Nakaayi ye Munnayuganda yekka eyeetabye mu misinde gino egyaguddewo sizoni ye eya 2023.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *