Nakaayi ne Nanyondo emisinde gy’e Yitale gibakeese.

Nakaayi ne Nanyondo emisinde gy’e Yitale gibakeese.

Winnie Nanyondo ne Halima Nakaayi bavudde mu misinde gya ‘Rome Diamond League’ nga bagyasimula, bwe bamalidde mu kifo eky’omwenda ne 10, mu mpaka ezibaddeko vvaawompiteewo. Emisinde gino gibumbujjidde mu kisaawe galikwoleka ekya ‘Estadio Olympico’ e Roma mu Yitale mu kiro, ekikeesezza ku Lwokutaano (June 10,2022). Nakaayi attunse mu mmita 800 n’amalira mu kifo eky’e 10

Winnie Nanyondo ne Halima Nakaayi bavudde mu misinde gya ‘Rome Diamond League’ nga bagyasimula, bwe bamalidde mu kifo eky’omwenda ne 10, mu mpaka ezibaddeko vvaawompiteewo.

Emisinde gino gibumbujjidde mu kisaawe galikwoleka ekya ‘Estadio Olympico’ e Roma mu Yitale mu kiro, ekikeesezza ku Lwokutaano (June 10,2022).

Nakaayi attunse mu mmita 800 n’amalira mu kifo eky’e 10 ku baddusi 12 ababadde ne lukontana luno, ng’agiddukidde eddakiika 2:01:15. Attunse ne bakafulu okuli Omujamaica Goule Natoya, Hailu Freweyni enzaalwa ya Ethiopia, Munnakenya Moraa Mary, n’abalala.

Nanyondo amalidde mu kyawemda mu mmita 1500 gyaddukidde eddakiika 4:16:17.

Ng’emisinde gino gyakaggwa ababiri bategezezza nti embeera y’obudde eteebadde nnungi, y’emu ku nsonga ezibaviiriddeko okukola obubi, kyokka ne bawera okuddira mu maanyi mu misinde egiddako gye beetegekera.

Mu misinde gye gimu, kafulu mu kuwenyuuka, Omujamaica Elaine Thompson-Herah naye bamuwanguddeko egya mmita 200 gy’abadde yeefuze okumala ebbanga. Shericka Jackson munnansi munne,  y’amumezze.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *