Nakalembe yeddizza empaka za ‘Nigeria Golf Open’

Nakalembe yeddizza empaka za ‘Nigeria Golf Open’

IRENE Nakalembe omuzannyi wa ‘Golf’ yeddizza empaka za ‘Nigeria Golf Open’ ezaayindidde mu kibuga Lagos ekya Nigeria. Nakalembe ng’ono azannyira ‘Entebbe Golf Club’ yawangudde empaka zino ku bubonero 239 n’addirirwa Munnayuganda munne Gloria Mbaguta ku bubonero 244 olwo Aba Nigeria Evelyn Oyeme ku 249, Chichi Alamu ku 268 ne Lynda Otiese bwe babadde lyanda ku

IRENE Nakalembe omuzannyi wa ‘Golf’ yeddizza empaka za ‘Nigeria Golf Open’ ezaayindidde mu kibuga Lagos ekya Nigeria.

Nakalembe ng’ono azannyira ‘Entebbe Golf Club’ yawangudde empaka zino ku bubonero 239 n’addirirwa Munnayuganda munne Gloria Mbaguta ku bubonero 244 olwo Aba Nigeria Evelyn Oyeme ku 249, Chichi Alamu ku 268 ne Lynda Otiese bwe babadde lyanda ku lyanda ne bagoberera.

Nakalembe ye yawangula empaka ze zimu lwe zaasemba okuzannyibwa mu 2019 ng’omwaka oguwedde tezazannyiddwa olwa Covid19.

W’awangulidde empaka zino nga ku ntandikwa ya wiiki ewedde Nakalembe y’omu eyasitukidde mu mpaka za ‘Tanzania Ladies Golf Open’ nga kati amaaso agatadde ku za ‘Tusker Malt Lager Uganda Golf Open’ ezitandika nga November 18.

userad
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *