Juliet Nalukenge ssita wa Crested Cranes ttiimu y’eggwanga ey’omupiira gw’abakazi awangulidde kiraabu ye eya Apollon Limassol Ladies liigi y’eggwanga eya Cyprus. Nalukenge eyazannyirako Kawempe Muslims wakati wa 2015 ne 2021 yeegatta ku Apollon mu 2021 ku ndagaano ya myaka ebiri. Bakakasiddwa ku bwa kyampiyooni bwa liigi ya Cyprus oluvannyuma lw’okukuba Lefkothea Nicosia 4-0 ku wiikendi.
Juliet Nalukenge ssita wa Crested Cranes ttiimu y’eggwanga ey’omupiira gw’abakazi awangulidde kiraabu ye eya Apollon Limassol Ladies liigi y’eggwanga eya Cyprus.
Nalukenge eyazannyirako Kawempe Muslims wakati wa 2015 ne 2021 yeegatta ku Apollon mu 2021 ku ndagaano ya myaka ebiri.
Bakakasiddwa ku bwa kyampiyooni bwa liigi ya Cyprus oluvannyuma lw’okukuba Lefkothea Nicosia 4-0 ku wiikendi.

Liigi bagiwangudde ku bubonero 36 nga tebakubiddwaamu mupiira gwonna wadde okukola amaliri, awamu bazannye emipiira 12 gyonna ne bagiwangula.
Kuno kwe bagasse okuteeba ggoolo 61 so nga bo bateebeddwaamu 7 zokka.
Nalukenge yasinga kukyaka bwe yalondebwa ng’omuzannyi eyasinga banne okukyanga omupiira mu liigi ya Uganda owa 2019.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *