Nam Blazers  yeesozze  ‘semi final‘ mu liigi ya basketball.

Nam Blazers  yeesozze  ‘semi final‘ mu liigi ya basketball.

NAM Blazers eyongedde okulaga eryaanyi mu liigi ya basket ball bwe yeesozze semi ng’ezannye ensiike 2 zokka kw’ezo essatu eza ‘quarter’. Yakubye KCCA Panthers (80-57) mu kudding’ana, ensiike eyasooka yagiwangula (63-41), ekyabayisizaawo okwesogga semi gye bagenda okusisinkana KIU Titans abaawanduddemu Power (70-57) ne (68-59) ku ‘quarter’. Nam Blazers yakuba KCCA Panthers awaka (68-61), n’ebadda mu

NAM Blazers eyongedde okulaga eryaanyi mu liigi ya basket ball bwe yeesozze semi ng’ezannye ensiike 2 zokka kw’ezo essatu eza ‘quarter’.

Yakubye KCCA Panthers (80-57) mu kudding’ana, ensiike eyasooka yagiwangula (63-41), ekyabayisizaawo okwesogga semi gye bagenda okusisinkana KIU Titans abaawanduddemu Power (70-57) ne (68-59) ku ‘quarter’.

Nam Blazers yakuba KCCA Panthers awaka (68-61), n’ebadda mu biwundu ku bugenyi (82-52) ku bugenyi mu nsiike ebbiri ez’ebibinja sizoni eno ne ku ‘quarter’ teyasanze kaseera kazibu kubawandulamu.

Mu ngeri  y’emu ,KIU Rangers mu bakazi yayiseewo okwesogga semi bwe yawanduddemu Miracle Ravens (78-76) ne (90-38)

KIU Rangers balinda ttiimu enaayitawo wakati wa UCU Lady Canons bakyampiyoni baliigi y’abakazi emirundi  7 ne Margic Stormers. Margic Stormers yawangula ensiike eyasooka(52-47) badding’ana wiiki ejja.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *