Nambirige akomyewo ku She Cranes.

Nambirige akomyewo ku She Cranes.

OMUZIBIZI wa National Insurance Corporation (NIC) bakyampiyoni ba liigi y’oku ntikko ey’okubaka emirundi 20 Sandra Ruth Nambirige, atadde akamwenyumwenyu ku matama g’abawagizi bw’akomyewo ku She Cranes ttiimu y’eggwanga ey’okubaka. Omutendesi wa She Cranes Fred Mugerwa Tabale yagaana okuyita Nambirige ttiimu y’eggwanga bwe yali egenda mu World Netball Cup wakati wa July 28 ne August 6,

OMUZIBIZI wa National Insurance Corporation (NIC) bakyampiyoni ba liigi y’oku ntikko ey’okubaka emirundi 20 Sandra Ruth Nambirige, atadde akamwenyumwenyu ku matama g’abawagizi bw’akomyewo ku She Cranes ttiimu y’eggwanga ey’okubaka.

Omutendesi wa She Cranes Fred Mugerwa Tabale yagaana okuyita Nambirige ttiimu y’eggwanga bwe yali egenda mu World Netball Cup wakati wa July 28 ne August 6, 2023 mu Cape Town ekya South Africa ekyayogeza abawagizi ebikankana abandi ne boogeza obusungu nti She Cranes egenda kusemba mu mpaka zino.

Nambirige yali atunuuliddwa nnyo okuziba eddibu lya kapiteeni wa She Cranes Joan Nampungu eyali asuddewo ttiimu y’eggwanga n’agenda mu bizinensi endala e Bulaaya. Mu kiseera ky’ekimu omuwuwuttanyi Jesca Achan n’omuteebi Peace Proscovia baali baabulidde She Cranes olw’ensonga ezitali zimu.

Ku wiikendi ttiimu y’eggwanga yazzeemu okutendekebwa ku kisaawe kya Kamwokya Sports Arena nga beetegekera okwetaba mu mpaka ez’omukwano za mirundi ebiri okuli; Vitality Netball Nations Cup wakati wa January 20-28 mu bisaawe bibiri ekya OVO Arena Wembley ne First Direct Arena mu kibuga Leeds ekya Bungereza wamu n’okukyalira Wales.

Eggulo mu kutendekebwa e Kamwokya Cecilia Anyakoit omu ku bakulembeze abapya abali ku kakiiko ak’ekiseera akaddukanya ekibiina ky’okubaka yategeezezza nga kati emirimu bwe bagitandise wabula ebisingawo bajja kubirambulula nga ssentebe Moses Mwase akomyewo okuva e Mauritius.

Abazannyi abali mu kutendekebwa kuliko; Irene Eyaru, Lilian Achola, Faridah Kaddondi, Christine Nakitto, Margaret Baagala, Christine Kango Namulumba, Shadia Nassanga Sseggujja, Annet Najjuka, Sarah Nakiyunga, Florence Adunia, Mercy Batamuliza, Lilian Achola n’abalala.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *