Nandago annunude Kawempe Muslim.

Nandago annunude Kawempe Muslim.

Kawempe Muslim 4-1 Rines SS WFC. Hadijah Nandago omuwuwuttanyi wa Kawempe Muslim yateebye ggoolo ssatu ku wiikendi n’agenda mu byafaayo bya kiraabu eno ng’omuzannyi wa Kawempe Muslim assoose okuteeba ggoolo ezo mu liigi y’abakazi omwaka guno. Eggulo ku Ssande,Kawempe yamezze Rines SS ggoolo 4-1 mupiira gwe baabadde beetaga ennyo oluvannyuma lw’okukola amaliri ne UCU Lady

Kawempe Muslim 4-1 Rines SS WFC.

Hadijah Nandago omuwuwuttanyi wa Kawempe Muslim yateebye ggoolo ssatu ku wiikendi n’agenda mu byafaayo bya kiraabu eno ng’omuzannyi wa Kawempe Muslim assoose okuteeba ggoolo ezo mu liigi y’abakazi omwaka guno.

Eggulo ku Ssande,Kawempe yamezze Rines SS ggoolo 4-1 mupiira gwe baabadde beetaga ennyo oluvannyuma lw’okukola amaliri ne UCU Lady Cardinals (1-1) wiiki ewedde.

Ayub Khalifa atendeka Kawempe Muslim yagambye nti teri ttiimu yonna egenda kujja mu maka gaabwe e Kawempe eggyewo obubonero bwonna kuba sizoni eno ttiimu ekola bulungi ate n’abazannyi bamanyi kye baagala mu kaseera kano.

Kawempe yazze mu kifo kyakutaano ku bubonero munaana mipiira 5 sso yo Rines SS y’ekwebedde ku ttebo

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *