Nasser amalidde mu kyakuna mu za Machakos e Kenya

 Nasser amalidde mu kyakuna mu za Machakos e Kenya

Eggulo Ssande (February 5, 2023), Nasser ng’ayambibwako Joseph Kamya eyamusomedde maapu baavuganyizza mmotoka za bannakenya 19 okutolontoka kiromita 155.27. Ono yeeyambisizza empaka zino okwetegekera eza Afrika ezigenda okuyindira mu kibuga Yamoussoukro ekya Ivory Coast wakati wa February 24 – 26, 2023. “Machakos ampadde okusomooza kungi era nvuddeyo nga mmaze okwewa obubonero nti Ford Fiesta R5 MK2

Eggulo Ssande (February 5, 2023), Nasser ng’ayambibwako Joseph Kamya eyamusomedde maapu baavuganyizza mmotoka za bannakenya 19 okutolontoka kiromita 155.27.

Ono yeeyambisizza empaka zino okwetegekera eza Afrika ezigenda okuyindira mu kibuga Yamoussoukro ekya Ivory Coast wakati wa February 24 – 26, 2023.

“Machakos ampadde okusomooza kungi era nvuddeyo nga mmaze okwewa obubonero nti Ford Fiesta R5 MK2 sinagiyiga wadde era kino kizuukusizza obwongo bwange nti nkyalina eby’okukola bingi okutuukana n’omutindo gwa mmotoka gye naguze,” Nasser bwe yategeezezza.

Nasser agamba nti ekigendererwa sizoni eno kya kuvuganya ku ngule ya Afrika (African Rally Championship) wabula okusobola okutuukiriza kino alina okwetaba mu buli mpaka ezimusala mu maaso kimuyambe okukaza ekigere ku muliro gwa mmotoka gy’alina omungi ennyo.

Eza Machakos zaawanguddwa Jeremiah Wahome, n’addirirwa McRae Kimathi, Jasmeet Chana, Yassin Nasser n’abalala bangi.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *