EMIKISA gya Bannayuganda Yassin Nasser ne Jas Mangat ku ngule ya Afrika eya mmotoka z’empaka gitangadde olw’omutindo omulungi kwe baavugidde eza ARC Equator Rally. Empaka zino zaakomekkerezeddwa eggulo Ssande oluvannyuma lw’ennaku ssatu nga ziyindira mu ssaza lya Voi-Taita-Taveta mu kibuga Nairobi ekya Kenya. Nasser mu mmotoka ye Ford Fiesta R5 MK2 yamalidde mu kyakubiri emabega
EMIKISA gya Bannayuganda Yassin Nasser ne Jas Mangat ku ngule ya Afrika eya mmotoka z’empaka gitangadde olw’omutindo omulungi kwe baavugidde eza ARC Equator Rally.
Empaka zino zaakomekkerezeddwa eggulo Ssande oluvannyuma lw’ennaku ssatu nga ziyindira mu ssaza lya Voi-Taita-Taveta mu kibuga Nairobi ekya Kenya.
Nasser mu mmotoka ye Ford Fiesta R5 MK2 yamalidde mu kyakubiri emabega wa Munnakenya Karan Patel eyazzeemu okuziwangula nga bwe gwali sizoni ewedde.
Mangat mu Mitsubishi Evo X wadde mmotoka ye si ya maanyi okusinziira ku baddereeva 20 abeetabyemu ze baabadde nazo, yamalidde mu kifo kyakuna ekyamuwadde essuubi nti asobola okuvuganya mu mpaka ezisigaddeyo ku kalenda ya Afrika.

Zino zaabadde mpaka za mulundi gwakubiri ku kalenda ya Afrika ey’emmotoka z’empaka oluvannyuma lw’ezaasooka mu Ivory Coast ezaavugibwa wakati wa February 24-26.
Omulundi guno baavuze olugendo lwa kkiromita 421.08 nga 205.25 ze zivuganyizibwako.
Empaka za Afrika eziddako zaakuvugibwa wano mu ggwanga eza Pearl wakati wa May 5-7.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *