Nasser awangudde engule ya NRC.

 Nasser awangudde engule ya NRC.

OMUVUZI wa mmotoka za mpaka Yasin Nasser yalangiriddwa nga kyampiyoni w’omwaka guno nga karenda ekyabulako empaka za mirundi 2. Yasin okutuuka ku kkula lino, kyaddiridde okuwangula empaka z’e Masaka ezaabaddeyo ku wiikendi bwe yavugidde essaawa 01:27:02.53 kyokka Duncan Mubiru ‘Kikankane’ bwe babadde ku mbiranye okusinga n’atazimalaako. E Masaka, Yasin yagenze n’ekiruubirirwa kyakumalira mu bifo bisatu

OMUVUZI wa mmotoka za mpaka Yasin Nasser yalangiriddwa nga kyampiyoni w’omwaka guno nga karenda ekyabulako empaka za mirundi 2.

Yasin okutuuka ku kkula lino, kyaddiridde okuwangula empaka z’e Masaka ezaabaddeyo ku wiikendi bwe yavugidde essaawa 01:27:02.53 kyokka Duncan Mubiru ‘Kikankane’ bwe babadde ku mbiranye okusinga n’atazimalaako.

E Masaka, Yasin yagenze n’ekiruubirirwa kyakumalira mu bifo bisatu bisooka asobole okukuuma mmotoka ye nga nnamu kuba wiikendi ejja agenda kuvuga z’e Burundi.

“Nnazze ntunuulidde kumalira mu kyakubiri oba kyakusatu wabula Katonda n’ayamba ne mpangula. Saakirowoozako nti we tunaatuukira wano engule ndiba ngimaze naye nkikoze era kinnyambye kati obwanga kambuteeke ku ngule ya Afrika,” Yasin bwe yagambye.

Eno ngule ya Yasin eyookubiri mu byafaayo nga yasooka kuwangula ya 2019 ng’ey’omwaka guno baamulagiridde yaakakung’aanya obubonero 498. Kalenda y’omwaka ebuzaayo empaka 2.

OBWANGA ABUZIZZA KU YA AFRIKA

Olwavudde e Masaka, Yasin yakwatiddewo mmotoka ye n’ayolekera Burundi gy’agenda okuttunkira ku ngule ya Afrika ku wiikendi. Yasin y’omu ku Bannayuganda 4 abagenda okwetaba mu mpaka zino. Abalala ye; Jas Mangat, Fred Busuulwa ne Innocent Bwamiki. Ku ngule ya Afrika, Yasin akulembedde n’obubonero 54 ng’ayagala wiini asigale ku ntikko. 

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *