Pasuwa alwana kugula mmotoka ya maanyi.

Pasuwa alwana kugula mmotoka ya maanyi.

IBRAHIM Lubega Pasuwa omuvuzi wa mmotoka z’empaka alangiridde nti eno ye sizoni esembayo okuvuga omutendera gwa mmotoka ezisikira ku mipiira ebiri (2WD), omwaka ogujja waakubbinkana n’abeeyita abanene mu muzannyo guno. Pasuwa ku wiikendi yataddewo omutindo omulungi bwe yawangudde 2WD ng’avugidde essaawa 1:46:13.49 okutolontoka olugendo lwa kiromita 144. Yeenywereza ku ntikko y’engule y’omutendera guno n’obubonero 82.

IBRAHIM Lubega Pasuwa omuvuzi wa mmotoka z’empaka alangiridde nti eno ye sizoni esembayo okuvuga omutendera gwa mmotoka ezisikira ku mipiira ebiri (2WD), omwaka ogujja waakubbinkana n’abeeyita abanene mu muzannyo guno.

Pasuwa ku wiikendi yataddewo omutindo omulungi bwe yawangudde 2WD ng’avugidde essaawa 1:46:13.49 okutolontoka olugendo lwa kiromita 144. Yeenywereza ku ntikko y’engule y’omutendera guno n’obubonero 82.

Addirirwa Oscar Ntambi kyampiyoni wa sizoni eno alina obubonero (32), Mansoor Lubega (31), Umar Kakyama (28.5) Edward Kirumira (19.5), Julius Ssemambo (19) n’abalala.

Pasuwa wadde wa Toyota Coralla FX GT, atadde akazito ku bavuzi abalina mmotoka ez’amaanyi ku mutendera gwa bakafulu (NRC). Ku ngule eno, yaakakung’aanya obubonero 184 mu kifo ekyokuna emabega wa Ronald Ssebuguzi (190) ne Duncan Mubiru Kikankane (233) abavuga Ford Fiesta Proto kw’ossa ne Yasin Nasser akulembedde engule ya NRC ku bubonero 398.

“Natandise okulya amabanja, njagala kugula mmotoka nsajja sizoni ejja, ku lw’obuyinza bwa Allah, eno ye sizoni esemba mu 2WD,” Pasuwa bwe yategeezezza.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *