MUNNAYUGANDA omuvuzi wa mmotoka z’empaka, Yasin Nasser ayongedde okulaga nga bw’ali omwetegefu okuwangula engule 3 omwaka guno. Yasin, avuganya ku ngule ya Uganda (NRC) ng’eno yagiwangula dda nga wakyabulayo empaka za mirundi 2 ku bubonero 498. Avuganya ku y’e Tanzania (akulembedde n’obubonero 60) n’eya Afrika gy’akulembedde n’obubonero 78. Ku Ssande, Yasin yawangudde empaka za Tanga
MUNNAYUGANDA omuvuzi wa mmotoka z’empaka, Yasin Nasser ayongedde okulaga nga bw’ali omwetegefu okuwangula engule 3 omwaka guno.
Yasin, avuganya ku ngule ya Uganda (NRC) ng’eno yagiwangula dda nga wakyabulayo empaka za mirundi 2 ku bubonero 498. Avuganya ku y’e Tanzania (akulembedde n’obubonero 60) n’eya Afrika gy’akulembedde n’obubonero 78.
Ku Ssande, Yasin yawangudde empaka za Tanga Rally e Tanzania n’ayongera okwenywereza ku ntikko era n’awera nti, “Wadde wakyabulayo empaka za mirundi 3, njagala engule y’e Tanzania ngimalirize ng’obudde bukyali nga bwe nnakola ku ya Uganda olwo obwanga mbusigaze ku ya Afrika yokka.”
E Tanzania, Yasin yavugidde essaawa 01:26:10. Yaddiriddwa Randeep Singh ne Manveer Birdi mu kyokusatu.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *