Mbarara City Rally 2023 Yassin Nasser 1:15:55.67 Duncan Mubiru 1:20:12.50 Ronald Ssebuguzi 1:21:37.92 Hassan Alwi Junior 1:24:09.66 Byron Rugomoka 1:24:30:46 Fred Busuulwa Kitaka 1:25:59:17 EMMOTOKA empya ekika kya ‘Ford’ zirese abawagizi b’e Mbarara nga bayaayaana bwe zeetisse empaka za Mbarara City Rally 2023 ku sipiidi ebadde ekyaludde okulabwako mu byafaayo by’emmotoka z’empaka wano mu ggwanga. Ku Ssande (February 12, 2023) empaka ezagguddewo kalenda y’emmotoka z’empaka
Mbarara City Rally 2023
Yassin Nasser 1:15:55.67
Duncan Mubiru 1:20:12.50
Ronald Ssebuguzi 1:21:37.92
Hassan Alwi Junior 1:24:09.66
Byron Rugomoka 1:24:30:46
Fred Busuulwa Kitaka 1:25:59:17
EMMOTOKA empya ekika kya ‘Ford’ zirese abawagizi b’e Mbarara nga bayaayaana bwe zeetisse empaka za Mbarara City Rally 2023 ku sipiidi ebadde ekyaludde okulabwako mu byafaayo by’emmotoka z’empaka wano mu ggwanga.
Ku Ssande (February 12, 2023) empaka ezagguddewo kalenda y’emmotoka z’empaka omwaka guno bwe zaakomerezeddwa oluvannyuma lw’ennaku bbiri nga ziyiriba mu disitukiti y’e Mbarara.
Yassin Nasser ne Ali Katumba amusomera maapu mu Ford Fiesta R5 MK2 be baaziwangudde nga bavugidde essaawa 1:15:55.67, Ronald Ssebuguzi ne Anthony Mugambwa mu Ford Fiesta Proto be baddiridde (1:20:12.50) ate Duncan Mubiru Kikankana mu Ford Fiesta Proto ng’ayambibwako Joseph Bongole ku maapu (1:21:37.92) be baaziford abasatu abeefuze empaka zino.
Guno gwe mulundi ogusookedde ddala Yassin Nasser okuwangula empaka z’e Mbarara bukya atandika kuvuga, kati yeegasse ku Ponsiano Lwakataka akyasinze okuziwangula (2010, 2013, 2021, 2022), Jas Mangat (2012, 2018, 2019), Duncan Mubiru (2014, 2015), Ronald Ssebuguzi (2016) ne Omar Mayanja (2017).
Nasser oluvannyuma lw’obuwanguzi buno yeeweredde okuteekawo okuvuganya okw’amaanyi mu mpaka eziri ku kalenda ya Afrika sizoni eno (African Rally Championship) ng’atandikira ku zigenda okuyindira mu kibuga Yamoussoukro ekya Ivory Coast wakati wa February 24 – 26, 2023.


Omwaka guno ntunuulidde nnyo kalenda ya Afrika, empaka z’awaka nja kwetaba mu ntonotono kuba nkyetaaga okumanyiira mmotoka eno ekyali empya ng’ebyokugiyigako bingi,” Nasser bwe yategeezezza.
Ssebuguzi agamba nti emyaka mingi nga tawangula ngule ya NRC okuva 2014 lwe yasemba, omwaka guno ensonga lwaki yaguze mmotoka empya, ayagala ngule ey’omulundi ogwokuna mu byafaayo.
Wabula ye Kikankane yayogedde abalaata nti ye avuga mmotoka kusanyusa bawagizi be n’okunyumirwa omuzannyo gw’ayagala ennyo, wabula ssinga baavuganya nabo basumagira naye engule y’omwaka agitunuulidde.
“Mmotoka gyenvuga y’amaanyi mangi, naye nina essanyu nti kati ng’enda njekakasa kuba ebadde ensumbuwa nnyo, ngitomezza emirundi egiwerako naye kati njeewulira,” Kikankane bwe yategeezezza.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *