Nasser yawangudde empaka za Moil EMC Jinja Rally.

Nasser yawangudde empaka za Moil EMC Jinja Rally.

Omuvuzi wa mmotoka z’empaka, Yasin Nasser ayongedde okuleebya banne ku ngule ya NRC bwe yawangudde empaka za Moil EMC Jinja Rally ku Ssande. Nasser obuwanguzi buno bwamututte ku bubonero 398 nga Duncan Mubiru ‘Kikankane’ ali mu kyokubiri, ali ku 233. Mu z’e Jinja, Nasser yawangudde enkontana zonna ze baavuganyizzaamu ekyawadde abawagizi be essanyu n’okuwera nti

Omuvuzi wa mmotoka z’empaka, Yasin Nasser ayongedde okuleebya banne ku ngule ya NRC bwe yawangudde empaka za Moil EMC Jinja Rally ku Ssande.

Nasser obuwanguzi buno bwamututte ku bubonero 398 nga Duncan Mubiru ‘Kikankane’ ali mu kyokubiri, ali ku 233.

Mu z’e Jinja, Nasser yawangudde enkontana zonna ze baavuganyizzaamu ekyawadde abawagizi be essanyu n’okuwera nti sizoni eno, baakusitukira mu ngule ya mmotoka eyookubiri. Yasooka kuwangula ya 2019.

Ronald Ssebuguzi yamalidde mu kyakubiri n’asembera okuva mu kyokutaano n’adda mu kyokusatu nga kati alina obubonero 190.

Obuwanguzi bwa Nasser bwamuwadde enkizo okusitukira mu ngule y’omwaka guno singa awangula empaka z’e Masaka ezinaavugibwa ku wiikendi ya August 11-13. Nasser yayongedde amaanyi ku kuvuganya ku ngule ssatu omwaka guno.

Ng’oggyeeko eya NRC, Nasser avuganya ku ngule ya Tanzania n’eya Afrika eya ARC.

Mu ngeri y’emu Ibrahim Lubega ‘Pasuwa’ yayongedde okweriisa enkuuli mu mutendera gw’ezisikira ku mipiira ebiri bwe yaziwangudde n’aweza obubonero 82.

Oscar Ntambi ali mu kyokubiri ku ngule eno teyamazeeko n’asigala ku bubonero 32.

Mu ngeri y’emu, bamusaayimuto bana baaliisizza bakafulu b’omutendera gwa CRC (eddirira eza Two Wheel) enfuufu bwe baawangudde empaka zino.

Abooluganda Ali Yasser Omar ‘Bobo’ ne Ali Omar Wazir amusomera maapu mu Mitshubish Evo 4, ssaako Ali Ahmeed Mohammed ne Ahmeed Mohammed Anees mu Subaru Impreza N14 baacamudde abawagizi olw’engeri gye bayiribyamu mmotoka.

Joshua Muwanguzi akulembedde omutendera guno teyamazeeko sso nga Godfrey Kiyimba ali mu kyokubiri ku ngule eno, yamalidde mu kyakusatu.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *