National Senior Pool League kyaddaaki ekomyewo.

National Senior Pool League kyaddaaki ekomyewo.

Skin Samona ye yasemba okuwangula empaka za pool mu 2019. Royal Giants ne Scrap Buyers be baggulawo eza Liigi y’eggwanga ey’omuzannyo gwa pool emanyiddwa nga National Senior Pool League kyaddaaki ekomyewo oluvannyuma lw’emyaka ebiri nga tezannyibwa. Ttiimu 14 ze zigenda okugyetabamu okwetooloola ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo. Yaakuggyibwako akawuuwo leero Lwakusatu June 15 nga Royal Giants egenda

Skin Samona ye yasemba okuwangula empaka za pool mu 2019. Royal Giants ne Scrap Buyers be baggulawo eza

Liigi y’eggwanga ey’omuzannyo gwa pool emanyiddwa nga National Senior Pool League kyaddaaki ekomyewo oluvannyuma lw’emyaka ebiri nga tezannyibwa.

Ttiimu 14 ze zigenda okugyetabamu okwetooloola ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Yaakuggyibwako akawuuwo leero Lwakusatu June 15 nga Royal Giants egenda okwabikira ne Scrap Buyers okuva e Ntinda ku Tickles and Giggles Bar e Kiwaatule.

Scrap Buyers y’emu ku ttiimu ezizze zeefuga omuzannyo guno ng’eduumirwa Fahad Ssewankambo kyampiyoni w’empaka za Nation Open Pool Championship ow’emirundi ebiri.

Robert Kayanja, amyuka pulezidenti w’ekibiina kya ‘Pool Association of Uganda’ ekiddukanya omuzannyo guno mu ggwanga agambye nti basanyufu olwa liigi eno okuddamu okutojjera n’agamba nti yaakwongera okwogiwaza abazannyi naddala nga balina empaka ez’enjawulo ze beetegekera.

Mbale Pool Club ne Tororo ze ttiimu ebiri empya ezaasuumuusiddwa okujja mu liigi eno. Skin Samona ye yasemba okuwangula liigi eno mu 2019.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *