NCS eweze okuvunaana ebibiina by’emizannyo ebinyigiriza abazannyi.

NCS eweze okuvunaana ebibiina by’emizannyo ebinyigiriza abazannyi.

Amyuka ssaabawandiisi wa National Council of Sports (NCS), David Katende Ssemakula avuddeyo n’avumirira ebibiina ebitulugunya abazannyi kyokka nga tebisobola kubaawo we batali. Katende okwogera bino yabadde ku mukolo ogwategekeddwa ekibiina ekitwala omuzannyo gwa woodball mu ggwanga ekya Uganda Woodball Federation (UWF) bwe baabadde basiima abazannyi abaasinze okwolesa omutindo mu mwaka 2022 ku wooteeri ya Africana.

Amyuka ssaabawandiisi wa National Council of Sports (NCS), David Katende Ssemakula avuddeyo n’avumirira ebibiina ebitulugunya abazannyi kyokka nga tebisobola kubaawo we batali.

Katende okwogera bino yabadde ku mukolo ogwategekeddwa ekibiina ekitwala omuzannyo gwa woodball mu ggwanga ekya Uganda Woodball Federation (UWF) bwe baabadde basiima abazannyi abaasinze okwolesa omutindo mu mwaka 2022 ku wooteeri ya Africana.

“Mu NCS tuzze tufuna abazannyi ab’enjawulo nga beemulugunya ku ngeri gye bayisibwamu abakulembera ebibiina by’emizannyo. Kino nga NCS tukivumirira era tutaddewo akakiiko akalondoola ensonga eno okukakasa oba nga ddala ebyogerwa bituufu,” Katende bwe yategeezezza.

Omukolo gw’okutikkira abazannyi abasukkulumye mu mwaka 2022 gwatandise na kusiima abakozi ba Vsion Group, Charles Lubwama ne Ronald Kasirye abaaweereddwa engule olw’okumalira mu kifo kyokubiri mu mutendera gwa bbiici woodball mu basajja.

Aba kiraabu ya Kisubi Corporates baagwefuze nga ku mitendera ena egyabaddeko okuvuganya okw’amaanyi, baawanguddeko esatu okuli ogwa woodball w’oku bbiici, n’omutendera gw’ebitongole ssaako ogw’ebitongole mu liigi.

Abazannyi ba Kisubi okuli; Raymond Ssemata, Aloysius Ssekajugo ne Babirye Nalwoga be baasinze okuyoola engule.

Joyce Nalubega ye yalondeddwa nga omukyala asukkulumye ku bane omwaka guno ate Thomas Kedi n’atwala eky’abasajja nga bombi engule zaabwe zaabakwasiddwa Katende.

Guno mulundi gwa 10 ng’aba woodball batikkira abazannyi abasinze okukola obulungi mu mwaka.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *