Ndahiro owa URA omusango gwamusse mu vvi.

Ndahiro owa URA omusango gwamusse mu vvi.

Akakiiko akakwasisa empisa mu FUFA aka Competitions Disciplinary Panel kakalize omuzannyi wa URA, Derrick Ndahiro oluvannyuma lw’okukizuula nti yavuma omuwuubi w’akatambaala Issa Masembe mu mupiira mwe baalemaganira ne Blacks Power (0-0) mu liigi. Ono waakusubwa emipiira ebiri okuli ogwa SC Villa mwe yava ku Lwomukaaga nga December 17 e Nakisunga n’ogwa Gadaffi FC nga December

Akakiiko akakwasisa empisa mu FUFA aka Competitions Disciplinary Panel kakalize omuzannyi wa URA, Derrick Ndahiro oluvannyuma lw’okukizuula nti yavuma omuwuubi w’akatambaala Issa Masembe mu mupiira mwe baalemaganira ne Blacks Power (0-0) mu liigi.

Ono waakusubwa emipiira ebiri okuli ogwa SC Villa mwe yava ku Lwomukaaga nga December 17 e Nakisunga n’ogwa Gadaffi FC nga December 20 e Kakindu.

Ndahiro omusango gwamusse mu vvi oluvannyuma lw’akakiiko okukola okunoonyereza ne kazuula nti yakozesa olulimi oluvvoola omuwuubi w’akatambala Masembe.

Mu kiwandiiko akakiiko kano kye kaafulumizza, kaategeezezza nti omupiira nga guwedde wakati wa URA ne Blacks Power, Ndahiro yalumba Masembe n’amuwalabula ng’okukozesa ebigambo ebirengezza, ekintu ekikontana n’amateeka.

URA eri mu kifo kya 11 nga mu mipiira 11, erina obubonero 13.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *