Nemostars yakoze namanyi okufuna obuwanguzi  mu fayinolo za Volleyball

Nemostars yakoze namanyi okufuna obuwanguzi  mu fayinolo za Volleyball

Nemostars abalina ekikopo kya liigi ya Volleyball abasajja sizoni ewedde, baatuuyanye bwe zikala okukwakkula wiini esooka ku OBB MU fayinolo z’omwaka guno 2022. Mu fayinolo za liigi ya Volleyball VVC 3-1 Ndejje (abakazi) (25-15, 17-25, 25-22, 25-17) NemoStars 3-2 OBB (abasajja) Kaabadde katuubagiro ku wiikendi bwe baawangulidde ku luzannya (Set) olusembayo 3-2 (23-25, 25-21,20-25, 25-23

Nemostars abalina ekikopo kya liigi ya Volleyball abasajja sizoni ewedde, baatuuyanye bwe zikala okukwakkula wiini esooka ku OBB MU fayinolo z’omwaka guno 2022.

Mu fayinolo za liigi ya Volleyball

VVC 3-1 Ndejje (abakazi)

(25-15, 17-25, 25-22, 25-17)

NemoStars 3-2 OBB (abasajja)

Kaabadde katuubagiro ku wiikendi bwe baawangulidde ku luzannya (Set) olusembayo 3-2 (23-25, 25-21,20-25, 25-23 ne 15-8) oluvannyuma lwa ‘Orange Block Busters (OBB)’ abaakesogga liigi ya babinywera sizoni yaabwe esooka okuteekawo omutindo omulungi nga nabo baagala wiini.

Ekisaawe kya Old Kampala Arena kyabuguumiridde, obunkenke ne bukisaanikira oluvannyuma lw’abawagizi abasinga okulaga nti baabadde ku ludda lwa OBB abapy okuva mu disitulikiti y’e Jinja era newankubadde baakubiddwa(OBB), bazzeeyo bawera nkolokooto wiikendi ejja okwenunula.

Enzannya (sets) nnya zaawedde nga ttiimu zombi ziri maliri ga (2-2), omutendesi wa NemoStars Andrew Okapis obunkenke ne bumuyinga kwe kukola enkyukakyuka ezookukumu era n’awangula (set) esembayo(15-8).

“Abazannyi bange bazannyisizza ekyejo kingi, ttiimu baaginyomye, obwedda bakola ebisobyo ebitasuubirwa era mbadde munyiivu nnyo gye bali naye ng’enda kwongera okubawagala kuba ekikopo tukyetaaga,” Okapis bwe yategeezezza.

Lawrence Yakan Guma atendeka OBB yalayidde obutakkiriza NemoStars kuddamu kubawangula mu nsiike eyookubiri esuubirwa okuzannyibwa ku wiikendi eno.

Bano balina okukwatana enfunda ssatu ez’enjawulo ku fayinolo z’omwaka guno, ttiimu esinga okuwangula emirundi emingi y’ejja okulangirirwa ku bwa kyampiyoni bwa sizoni eno.

Mu fayinolo z’abakazi, Vision Volleyball Club (VVC) erabika yayise wagonvu oluvannyuma lw’okufuula Ndejje kiraasi nga babakuba enzannya 3-1(25-15, 17-25, 25-22, 25-17) ekyatangaazizza emikisa gy’ekikopo

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *