SSITA wa She Cranes, ttiimu y’eggwanga ey’okubaka Hanisha Muhameed Nakate afuuse Munnayuganda owookuna okufuna ttiimu gy’azannyira mu liigi ya Bungereza bwe yeegasse ku ttiimu ya Peace Proscovia eya Surrey Storm Netball Club. Kiddiridde omutindo omulungi gwe yayolesezza mu World Cup w’okubaka eyakomekkerezeddwa omwezi oguwedde e South Afrika. Okusinziira ku nsonda, Surrey Storm yatandika okwegwanyiza Haniisha
SSITA wa She Cranes, ttiimu y’eggwanga ey’okubaka Hanisha Muhameed Nakate afuuse Munnayuganda owookuna okufuna ttiimu gy’azannyira mu liigi ya Bungereza bwe yeegasse ku ttiimu ya Peace Proscovia eya Surrey Storm Netball Club.
Kiddiridde omutindo omulungi gwe yayolesezza mu World Cup w’okubaka eyakomekkerezeddwa omwezi oguwedde e South Afrika.
Okusinziira ku nsonda, Surrey Storm yatandika okwegwanyiza Haniisha mu mizannyo gya Commonwealth egyali mu kibuga Birmingham ekya Bungereza bwe yazannyanga mu kisenge ate nga baali baamulabako ng’ali ku She Cranes mu mpaka za Pent-Series, Uganda ze yawangulira kibuga Windhoek ekya Namibia mu 2021.
Ono yayongedde okubakakasa nti muzannyi wa njawulo mu World Cup bwe yazannye bulungi ebifo byombi mu kuteeba n’okuzibira nga Uganda emalira mu kyokutaano ate ng’efuuka nnamba emu mu Afrika bwe yakubye South Africa (49-47).
Surrey Storm ng’eyita ku mukutu gwayo ogwa ‘twitter’ gye buvuddeko, yakakasizza nga bw’esonjodde Haniisha okubayambako okwenywereza mu liigi y’oku ntikko eya Vitality Netball Super League.
Tuleese omu ku bazannyi ba She Cranes ab’amaanyi, okunyweza ekisenge kyaffe n’okutuyambako okuwangula,” Austin Mikki omutendesi wa Surrey Storm bwe yakakasizza.
“Sisobola kunnyonnyola ssanyu lye mpulira olw’ekirooto kyange okuzannya pulo okutuukirira wabula kye nnyinza okwogera nti ng’enda kukola nnyo obutaswaza ggwanga lyange ate n’okutuukiriza ekyo Surrey Storm kye nsuubiramu,” Haniisha bwe yategeezezza.
Ng’oggyeeko Peace Proscovia, Haniisa yeegasse ku Stella Oyella owa Strathclyde Sirens Netball Club ne Mary Nuba Cholhok owa Roughborough Lightning zonna za Bungereza.
Ebitotono ku Haniisha
Haniisha 23, muwala wa Hajji Muhameed ne Lamlatu Mbabazi ku kyalo Kamukuzi mu disitulikiti y’e Mbarara. Alina diguli mu Mass Communication ku UCU e Mukono. Emisomo gya siniya yagimalira ku Kibuli SS ate P.7 ku Mbarara Municipal P/S. Okubaka yakutandikira mu S3 era yeegomba abazannyi okuli; Peace Proscovia, Jhaniele Fawler ne Shamera Sterling (aba Jamaica).
“Njagala kukyusa enkola y’okunyooma n’okuyisaamu amaaso abazannyi abava e Mbarara n’emiriraano nti banafu,” Nakate bwe yakkaatirizza.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *