Oluvanyuma lw’omwezi mulamba nga liigi y’eggwanga ey’omuzannyo gw’okubaka eya Uganda Netball Super League nga eyimiriziddwa, kyadaaki ezzeemu okuzanyibwa leero n’emipiira etaano nga gyonna gibadde mu kisaawe ky’amakomera e Luzira. Omutendesi wa NIC Rashid Mubiru alabise nga yoomu kwabo abaganyuddwa mu luwummula luno oluvannyuma lw’okutegeeza ebbanga lye bamaze nga liigi tezannyibwa bwe libawadde akaseera abazannyi abapya
Oluvanyuma lw’omwezi mulamba nga liigi y’eggwanga ey’omuzannyo gw’okubaka eya Uganda Netball Super League nga eyimiriziddwa, kyadaaki ezzeemu okuzanyibwa leero n’emipiira etaano nga gyonna gibadde mu kisaawe ky’amakomera e Luzira.
Omutendesi wa NIC Rashid Mubiru alabise nga yoomu kwabo abaganyuddwa mu luwummula luno oluvannyuma lw’okutegeeza ebbanga lye bamaze nga liigi tezannyibwa bwe libawadde akaseera abazannyi abapya beyakansizza sizoni eno okwongera okumanyiira wamu n’okunyweza ebifo ebibadde biragaya mu ttiimu ye omuli oluda oluzibizi kwosa n’amakati.
Kino kyeyolese bulungi leero mu mupiira NIC gwezanye ne ne Africa Renewal University nga NIC ekulembedde omupiira eddaki 60.

Ekitundu ky’omuzannyo ekisooka kiwedde NIC ekikulembedde ku ggoolo 20 ku 34 nga eddakiika 60 zigenze okuggwako nga NIC eguwangudde ku ggoolo 73 ku 40.
“Ndi musanyufu nnyo olw’ensonga nti tuwangudde omupiira guno . Omupiira guno gutuyambye nnyo okugeseza abazannyi baffe abapya kuba okuwumulamu kuno kuyambye abazannyi baffe okwongera okwemanyiira obulung,” Mubiru bwe yategeza.
Mu mipiira emirala egizannyiddwa, UCU emezze Mutlex Life Sport ku ggoolo 55 ku 40 , Mutlex Life Sport ekubye Posta ku ggoolo 51 ku 38, Africa Renewal University ekubiddwa UCU ku ggoolo 50 ku 43 nga ate Weyonje emezze Posta ku ggoolo 60 ku 30.
Bakyampiyoni ba sizoni ewedde aba NIC kati bakulembedde liigi nobubonero 24 nga babwenkanye ne Prisons abali mu kyokubiri kwosa ne KCCA abali mukyokusatu nga liigi eddamu lu lwokusatu lwa wiiki ejja.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *