Liigi y’eggwanga ey’omuzannyo gw’okubaka eya National Netball Super League yazzeemu okuzannyibwa mu kisaawe kya makomera e Luzira n’emipiira ena nga NIC ne Prisons zaayongedde okwenyweza mu lutalo lwe baliko okuwangula ekikopo kya sizoni eno 2022/2023. Bakyampiyoni ba sizoni ewedde aba NIC baawangudde omupiira gwabwe wakati wa Posta bwe baagikubye ggoolo 71 ku 19 okwenywereza mu
Liigi y’eggwanga ey’omuzannyo gw’okubaka eya National Netball Super League yazzeemu okuzannyibwa mu kisaawe kya makomera e Luzira n’emipiira ena nga NIC ne Prisons zaayongedde okwenyweza mu lutalo lwe baliko okuwangula ekikopo kya sizoni eno 2022/2023. Bakyampiyoni ba sizoni ewedde aba NIC baawangudde omupiira gwabwe wakati wa Posta bwe baagikubye ggoolo 71 ku 19 okwenywereza mu kifo ekyokusatu mu liigi.
Prisons yamezze Mutlex Life Sport ne ggoolo 54 ku 28 okulinnya ku ntikko ya liigi n’obubonero 24.
Kaputeeni wa Prison Lilian Ajio ategeezezza nga bwe balina ekigendererwa eky’okulaba nga bawangula emipiira gyabwe gyonna bwe baba nga baakusitukira mu kikopo kya sizoni eno.

“Buli kiseera eky’okuwangula emipiira gyaffe gyonna tukyogerako mu kutendekebwa era ne tusala amagezi ku butya bwe tuyinza okuziyiza okukubwamu omupiiira gwonna.
Nga olugoba oluzibizi twenywezeza nnyo era ne bw’olaba mu nzannya yaffe waliwo enkyukakyuka nnene nnyo,” Ajio bwe yategeezezza.
Emirala egyazanyiddwa Makindye Weyonje yasiitaanye okumegga UPDF ku ggoolo 48 ku 44 nga Busia Greator Lions yamezze Posta ku ggoolo 50 ku 54.
Ate ye Kaputeeni wa Makindye Weyonje Shakira Nassaka yannyonnyodde nti emipiira esatu gye baasooka okukubwa mu liigi gyabakosa nnyo nga ekigendererwa kyabwe sizoni eno kyakwekumira mu kifo ekyokuna oba okumalira mu bitaano ebisooka.
Prisons ekulembedde liigi n’obubonero 24, KCCA eri mu kyakubiri n’obubonero 24 nga NIC eri mu kyakusatu n’obubonero 22.
Liigi eddamu ku Lwomukaaga luno n’emipiira etaano ku kisaawe e Kibuli nga Posta ettunka ne Mutlex, KCCA ne UgX Luwero, Weyonje ne Posta, Police ne Mutlex Life Sport ate Busia Greator Lions ettunk
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *