Bakyampiyoni ba sizoni ewedde aba NIC bawera kuddamu kuwangula kikopo kya kkiraabu z’okubaka ez’obuvanjuba bwa Africa eza East Africa Netball Club championships ez’okubeera mu Nairobi ekya Kenya mu May w’omwaka guno. Wadde nga sizoni ya liigi eno ten nabatambulira bulungi era nga bali mukifo kya kusatu, aba NIC kino tekibayungudde ttama kuba bagamba balina obusobozi
Bakyampiyoni ba sizoni ewedde aba NIC bawera kuddamu kuwangula kikopo kya kkiraabu z’okubaka ez’obuvanjuba bwa Africa eza East Africa Netball Club championships ez’okubeera mu Nairobi ekya Kenya mu May w’omwaka guno.
Wadde nga sizoni ya liigi eno ten nabatambulira bulungi era nga bali mukifo kya kusatu, aba NIC kino tekibayungudde ttama kuba bagamba balina obusobozi okuddamu okwezza ekikopo ky’omwaka guno.
Omutendesi wa kkiraabu eno, Rashid Mubiru agamba bo okutendekebwa kwa kaasammeeme baakutandise dda okulaba nga bagumya ttiimu yaabwe okutuukana n’omutindo.

Amyuka kaputeeni wa ttiimu eno, Margaret Baagala ategeezezza nti n’abazannyi abapya be bayongeddemu mu ttiimu nabo bamaze okunywera nga empaka zino we zinaatuukira bajja kuba bakuguse ekimala okuziwangula.
Nga oggyeeko NIC, kkiraabu za bakazi endala ezigenda okwetaba mu mpaka zino kuliko KCCA, Prisons ne Makindye Weyonje nga ez’abasajja ziri ssatu nga kuliko WOB, Kampala University ne Red star.
Empaka zino zaasemba kutegekebwa Uganda mu kisaawe e Kamwokya nga NIC ye yaziwangula nga KCCA yamalirira mu kyakubiri ate Prisons kyakusatu. Omutendera gw’abasajja gwawangulwa Kampala University nga WOB yamalirira mu kyakubiri.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *