Nicholas kabonge yegase ku URA FC.

Nicholas kabonge yegase ku URA FC.

Ono yatadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri ne bamuwonya akatebe kuba abadde takyalina ttiimu mw’azannyira oluvannyuma lw’endagaano ye SC Villa okugwaako sizoni ewedde.  … MU kaweefube w’okulaba nga URA FC edda engulu mu luzannya olwokubiri, abagikulira bali mu keetalo mu katale k’abazannyi bafune abazannyi abanaasitula ttiimu. Bakansizza eyaliko omuwuwuttanyi wa SC Villa, Nicholas Kabonge

Ono yatadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri ne bamuwonya akatebe kuba abadde takyalina ttiimu mw’azannyira oluvannyuma lw’endagaano ye SC Villa okugwaako sizoni ewedde.  …

MU kaweefube w’okulaba nga URA FC edda engulu mu luzannya olwokubiri, abagikulira bali mu keetalo mu katale k’abazannyi bafune abazannyi abanaasitula ttiimu. Bakansizza eyaliko omuwuwuttanyi wa SC Villa, Nicholas Kabonge okwongera okuggumiza amakkati ga ttiimu. 

Ono yatadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri ne bamuwonya akatebe kuba abadde takyalina ttiimu mw’azannyira oluvannyuma lw’endagaano ye SC Villa okugwaako sizoni ewedde. 

SC Villa ebadde ekyamuperereza okuzza endagaano eno obuggya wabula baalemereddwa okutuuka ku nzikiriziganya n’asalawo okwegatta ku URA. 

Kabonge omu ku baayamba essaza lya Gomba okusitukira mu mpaka z’amasaza mu 2017, azannyiddeko ttiimu okuli; Kampala Junior Team (KJT) mu kibinja ekyokuna. 

Ono waakuziba eddibu lya Shafiq Kagimu asuubirwa okwabulira ttiimu eno mu katale k’abazannyi omwezi guno. 

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *