Ntunuulide ngule ya mwaka gujja, Ssebuguzi

Ntunuulide ngule ya mwaka gujja, Ssebuguzi

Kyampiyoni we mmotoka z’empaka owa 2006,2009 ne 2016, Ronald Ssebuguzi akyewuunya engeri Katonda gye yamuyambye okumalira mu ky’okubiri mu z’e Masaka. Bwera Bristol SMC Masaka Rally, zaabadde mpaka zaakutaano ku kalenda y’engule y’eggwanaga (NRC) ey’omwaka guno nga zaakomekkerezeddwa ku  Ssande nga Duncan Mubiru Kikankane ye muwanguzi. Ssebuguzi abadde yaakagula mmotoka empya Ford Fiesta Proto nga

Kyampiyoni we mmotoka z’empaka owa 2006,2009 ne 2016, Ronald Ssebuguzi akyewuunya engeri Katonda gye yamuyambye okumalira mu ky’okubiri mu z’e Masaka.

Bwera Bristol SMC Masaka Rally, zaabadde mpaka zaakutaano ku kalenda y’engule y’eggwanaga (NRC) ey’omwaka guno nga zaakomekkerezeddwa ku  Ssande nga Duncan Mubiru Kikankane ye muwanguzi.

Ronald Ssebuguzi.

Ssebuguzi abadde yaakagula mmotoka empya Ford Fiesta Proto nga zino zaabadde mpaka zaakubiri ng’agivuga.  Yamalidde mu kyakubiri bwe yavugidde essaawa 1:30:52:89 emabega wa Kikankane(1:32:22:94)

Eze Masaka twabadde tugenze kwongera kugezesa mmotoka n’okwongera okugiyiga naye wakati mu kwagala okugezesa ggiya n’amannyi gaayo, Mukama ate n’atuyamba okumalira mu kyokubiri, naye kati tutunuulidde NRC ey’omwaka ogujja kuba guno tetukyasobola.”Ssebuguzi bwe yategeezezza”.

Ponsiano Lwakataka y’akyakulembedde ku ngule y’eggwanga n’obubonero 332 ng’addiriddwa Umar Dauda 208, Jonas Kasiime 201.5 ,Byron Rugomoka 184 ,Aine Sodo Kaguta 155 n’abalala.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *