Omuteebi wa She Cranes Mary Nuba nga omupiira gwe ogw’okubaka ogw’ensimbi aguzaNnyira Loughborough Lightning ezaNnyira mu liigi ya Bungereza ey’okubaka eya babinywera eya Vitality Netball Super League amezze kaputeeni we ku ttiimu ya She Cranes Peace Proscovia. Nuba ng’azannyira mu Loughborough Lightning beesisinkanye ne Peace azannyira mu Surrey Storm nga omupiira gugenze okuggwa nga Nuba
Omuteebi wa She Cranes Mary Nuba nga omupiira gwe ogw’okubaka ogw’ensimbi aguzaNnyira Loughborough Lightning ezaNnyira mu liigi ya Bungereza ey’okubaka eya babinywera eya Vitality Netball Super League amezze kaputeeni we ku ttiimu ya She Cranes Peace Proscovia.
Nuba ng’azannyira mu Loughborough Lightning beesisinkanye ne Peace azannyira mu Surrey Storm nga omupiira gugenze okuggwa nga Nuba asinzizza Peace ensumika.

Guno gubadde mupiira gwa Loughborough Lightning gwa musanvu mu liigi nga eguwangudde ku ggoolo 73 ku 64. Ku ggoolo za Loughborough Lightning 73 Nuba ateebyeko 57 ate nga ku ggoolo za Surrey Storm 64 Peace Proscovia ateebyeko 38.
Mu mupiira guno Loughborough Lightning yeefuze ebitundu by’omuzannyo bisatu ate Surrey Storm ne yeefugako kimu kyokka ekyokuna.
Surrey Storm ekulembedde liigi n’obubonero 21 mu mupiira mwenda nga Loughborough Lightning ya Nuba eri mu kyokubiri n’obubonero 18 mu mupiira musanvu.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *