ENSIMBI obukadde 350 ziteereddwa mu mpaka za ‘Golf’ eza ‘Singleton golf Challenge’ ez’omwaka guno. Zino ziggyibwako akawuuwo ku Lwomukaaga luno nga January 22 ku ‘Entebbe Golf Club’. Kkampuni y’omwenge gwa Singleton ogukolebwa ‘Uganda Breweries’ be batadde ensimbi mu mpaka zino. Abazannyi abasoba mu 228 be basubirwa okuzeetabamu olwo 64 abanaasinga bayitewo okwesogga oluzannya oluddako. Guno
ENSIMBI obukadde 350 ziteereddwa mu mpaka za ‘Golf’ eza ‘Singleton golf Challenge’ ez’omwaka guno.
Zino ziggyibwako akawuuwo ku Lwomukaaga luno nga January 22 ku ‘Entebbe Golf Club’. Kkampuni y’omwenge gwa Singleton ogukolebwa ‘Uganda Breweries’ be batadde ensimbi mu mpaka zino.
Abazannyi abasoba mu 228 be basubirwa okuzeetabamu olwo 64 abanaasinga bayitewo okwesogga oluzannya oluddako.
Guno mulundi gwa 6 ng’empaka zino zizannyibwa bukya ziggyibwako kawuuwo mu 2017.
Jacob Byamukama kapiteeni wa Entebbe Golf Club abategesi yagambye nti beetegefu okusitukira mu mpaka zino kuba bafunye okutendekebwa okumala.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *