Obululu bw’empaka za Stanbic Uganda Cup obw’omutendera gwa quarterfinal bukwatiddwa ku kitebe kya FUFA e Mengo mu Kampala, ku ttiimu zonna 8 ezatuuse ku mutendera guno. Omuyimbi nakinku era nga naye omupiira yaguzannya ne gunoga, Moses Matovu, yakulembeddemu omukolo ogw’okukwata obululu buno. Emipiira ku mutendera guno gya kuzanyibwa okuva nga 10 okutuuka nga 15 omwezi
Obululu bw’empaka za Stanbic Uganda Cup obw’omutendera gwa quarterfinal bukwatiddwa ku kitebe kya FUFA e Mengo mu Kampala, ku ttiimu zonna 8 ezatuuse ku mutendera guno.
Omuyimbi nakinku era nga naye omupiira yaguzannya ne gunoga, Moses Matovu, yakulembeddemu omukolo ogw’okukwata obululu buno.
Emipiira ku mutendera guno gya kuzanyibwa okuva nga 10 okutuuka nga 15 omwezi ogujja ogwa April 2023.
Club ya BUL eyawangula empaka ezasembayo akalulu kagisudde ku Police, Bright Stars egenda kuttunka ne KCCA, Adjuman TC egenda kuttunka ne Express mukwano gwabangi ate nga Vipers egenda kuzannya ne Calvary.

Moses Matovu ajjukirwa nnyo okuzannyirako club okuli Nakivubo Boys kati eyafuuka Villa Jogo Salongo, yazanyirako Express FC mukwano gwabangi, Lint Marketing Board ne Police FC.
FUFA yakakasa nti omuwanguzi agenda kufuna ensimbi obukadde 50.
Ttiiimu enakwata ekifo eky’okubiri egenda kufuna obukadde 25, ezinatuuka ku semifinal zakufuna obukadde 12 n’ekitundu, eza quaterfinal obukadde 6, round of 16 obukadde 3, round of 32 obukadde 2, nga ewamu obukadde 180 bwe butereddwawo okuwakanirwa.
KCCA ne Express bebakasinga okuwangula empaka zino emirundi 10, Villa Jogo emirundi 9, URA emirundi 3 nabalala.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *