Omupiira wakati wa club ya Busoga United ne Express FC eza Uganda Premier League gwagweredde mu kulwana n’omukka ogubalagala, oluvannyuma lw’abawagizi ba Busoga United okutandika okukasuka amayinja mu kisaawe. Express omupiira guno yaguwangulidde ku goolo 1- 0 eteebeddwa Allan Kayiwa mu ddakiika eye 87, nga gwazanyiddwa mu kisaawe e Kakindu Jinja. Abawagizi ba club ya
Omupiira wakati wa club ya Busoga United ne Express FC eza Uganda Premier League gwagweredde mu kulwana n’omukka ogubalagala, oluvannyuma lw’abawagizi ba Busoga United okutandika okukasuka amayinja mu kisaawe.
Express omupiira guno yaguwangulidde ku goolo 1- 0 eteebeddwa Allan Kayiwa mu ddakiika eye 87, nga gwazanyiddwa mu kisaawe e Kakindu Jinja.
Abawagizi ba club ya Busoga United baatandise okulaga obutali bumativu ku goolo ya Express gyefunye, nga ddifiri Richard Kimbowa yakoongeramu eddakiika 5 oluvannyuma lw’eeddakiika 90 okugwako.
Baatandise okukasuka amayinja mu kisaawe ekiwalirizza ddifiri okusooka okuguyimirizaamu.
Oluvanyuma lwémbeera okudda mu nteeko, ddifiiri Richard Kimbowa yalagidde omupiira guddemu okuzannyibwa kyokka abawagizi ba Busoga bazeemu buto okukasuka amayinja, olwo ddifiiri naagumaliriza nga guyiseeko eddakiika emu, ku ddakiika ettaano zaabadde ayongeddemu.
Obuwanguzi bututte Express mu kifo kya 3 nóbubonero 14 okuva mu mipiira 7, ate Busoga United esigadde mu kya 12 n’obubonero 6 okuva mu mipiira 8.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *