Okujjukira Oulanyah kurese aba Omoro nga bayaayaana ku ddemu.

Okujjukira Oulanyah kurese aba Omoro nga bayaayaana ku ddemu.

Disitulikiti y’e Omoro esaanikiddwa enduulu n’essanyu, ng’abatuuze banyumirwa emmotoka z’empaka ne ddigi ezaagendereddwaamu okujjukira Jacob L’Okori Oulanyah eyaliko sipiika wa paalamenti y’eggwanga eye 11. Empaka zino ezaatuumiddwa ‘Jacob Oulanyah Memorial Autocross and Enduro Challenge 2023’ zaamaze ennaku bbiri ku wiikendi nga ziyiribira ku kyalo Ayomlony, mu muluka gwa Jaka, mu ggombolola ya Lalogi mu disitulikiti ya

Disitulikiti y’e Omoro esaanikiddwa enduulu n’essanyu, ng’abatuuze banyumirwa emmotoka z’empaka ne ddigi ezaagendereddwaamu okujjukira Jacob L’Okori Oulanyah eyaliko sipiika wa paalamenti y’eggwanga eye 11.

Empaka zino ezaatuumiddwa ‘Jacob Oulanyah Memorial Autocross and Enduro Challenge 2023’ zaamaze ennaku bbiri ku wiikendi nga ziyiribira ku kyalo Ayomlony, mu muluka gwa Jaka, mu ggombolola ya Lalogi mu disitulikiti ya Omoro.

Gwabadde mugano nga gwa nswa, abatuuze bwe baaleese buli kyakulya okwabadde n’okutembeeya enkoko ennamu okuziguza bannakampala, emiyembe, ennaanansi n’ebirala kw’ossa okuzina amazina olw’okusiima FMU okubatwalira mmotoka z’empaka omulundi ogusoose mu byafaayo.

Oulanyah yafa nga March 19, 2022, kati guweze omwaka gumu, wiikendi eno abavuzi b’emmotoka z’empaka 16 n’aba ddigi z’abakungu (bikers) 10 baabadde mu maka ga Oulanyah nga beeriisa enfuufu okusiima emirimu gye yakolera omuzannyo.

Oulanyah yali mubonzi wa ddigi z’empaka ez’abakungu wansi wa ‘Uganda Bikers Association’, Yalina ppikipiki ekika kya Wakasaki ne MBW era ajjukirwa nnyo mu 2016 bwe yayambako FMU okuggyibwako omusolo ku ppikippiki z’empaka n’emmotoka empya eziyingizibwa mu ggwanga.

Mmotoka zaakebereddwa ku ssundiro lya mafuta ga Shell Gulu High way mu zzooni ya Layibi olwo ne zisimba lwa kasota okwolekera amaka g’omugenzi gye zaayiribidde olugendo lwa kkiromita 16.

Zaabadde mpaka za Autocross ez’omulundi ogw’okubiri ku kalenda y’emmotoka z’empaka omwaka guno, Joshua Muwanguzi ng’ayambibwako Ritah Nakigozi amusomera mmaapu mu Subaru Impreza N12 be baaziwangudde bwe baavugidde eddakiika 0:13:18:86.

Abalala ye Godfrey Kiyimba mu kyokubiri (0:13:25:92), Andrew Musoke (0:13:39:69), Jonas Matayo Kansiime (0:14:01:12) n’abalala.

Abavuzi 23 be beewandiisa okwetabamu wabula 16 bokka be baalabiseeko oluvannyuma lwa; Simon Courtinho, Dusty Yusuf Bukenya, Mohammed Bwete, Oscar Ntambi, Gilberto Balondemu, Samuel Watendwa ne Mustafa Kanakulya obutalabikako.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *