Mu liigi y’eggwanga ey’omuzannyo gw’okubaka eya Uganda Netball Super League, olutalo lw’omuzannyi asinze okulengera akatimba sizoni eno luli wakati wa bazannyi bataano nga bano sizoni w’enaggweerako omu kubo yajja okuweebwa engule y’omuzannyi asinze okulengera akatimba sizoni eno. 1 Christine Namulumba Ono muzannyi wa Prisons nga ssaawa eno y’akulembedde abateebi ne ggoolo 485 nga ono agamba
Mu liigi y’eggwanga ey’omuzannyo gw’okubaka eya Uganda Netball Super League, olutalo lw’omuzannyi asinze okulengera akatimba sizoni eno luli wakati wa bazannyi bataano nga bano sizoni w’enaggweerako omu kubo yajja okuweebwa engule y’omuzannyi asinze okulengera akatimba sizoni eno.
1 Christine Namulumba
Ono muzannyi wa Prisons nga ssaawa eno y’akulembedde abateebi ne ggoolo 485 nga ono agamba omwaka guno waakulaba ng’ awangula engule eno agisuuze Hasinah Kabendela eyagiwangula omwaka oguwedde.

Ono muzannyi wa wa NIC nga ye yad dira Stella Oyella mubigere. Ssaawa eno akawata kifo kyakubiri mu bazannyi abasinga okulengera akatambi ne ggoolo 484 nga bangi bagamba nti ono yayinza okusitukira mu ngule y’omwaka guno.
Ono muzannyi wa Busia Greater lions eyaakasuumusibwa okujja mu liigi sizoni eno 2021/2022 . Sizoni eno ono yaakateebamu ggoolo 450.
Ono ye yawangula engule y’omuzannyi asinze okulengera akatimba sizoni ewedde 2020/2021. Omwaka guno akwata kifo kyakuna mu bazannyi abasinze okulengera akatimba sizoni eno ng’alina ggoolo 432.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *