Bakyampiyoni ba liigi yegwanga aba vipers , bali ku muyiggo gwa mutendesi mupya oluvanyuma lwa Roberto Oliveira abaddewo okubaabulila. Ku Lwokuna,vipers yatadde ekiwandiiko ku mukutu gwayo ogwa twitter nge eraga nti bakiriganyiza ne Oliviera baawukane era ne bamwagaliza ebirungi. Oliveir,a yeegata ku vipers mu August wa 2021 ngendagano ye yabadde ekyaliko.kigambibwa nti agenda ku simba
Bakyampiyoni ba liigi yegwanga aba vipers , bali ku muyiggo gwa mutendesi mupya oluvanyuma lwa Roberto Oliveira abaddewo okubaabulila.
Ku Lwokuna,vipers yatadde ekiwandiiko ku mukutu gwayo ogwa twitter nge eraga nti bakiriganyiza ne Oliviera baawukane era ne bamwagaliza ebirungi.

Oliveir,a yeegata ku vipers mu August wa 2021 ngendagano ye yabadde ekyaliko.kigambibwa nti agenda ku simba eya Tanzania. Oliveira, yafuna nnyo ettutumu oluvannyuma lwa vipers okuggya TP Mazembe eya Congo mu CAF champions League.
Ensonda mu vipers zaalaze nti Mulindwa yabadde akyayagala Oliveira kyokka nga samba emuwa ssente nnyingi nga tayinza kumugaana kugenda.
Mu kiseera kino, Simba terina mutendesi wa nkalakakalira oluvannyuma lwokwawukana ne Zoran Manoljovic.Juma Magada y’ aliwo nga oweekiseera .
Vipers yaakubiri ku bubonero 27 emabega wa KCCA ekulembede ku 29.
Oliveira , awangulidde vipers ekikopo kya liigi nokugitwala mu bibinja bya CAF Champions League bwe baawandudde babbingwa ba Afrika aba TP Mazembe.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *