Omuddusi w’embiro ennyimpi eza mmita 800 Abu Mayanja y’omu ku baddusi abakyasembyeyo okuyitawo okukiika mu mizannyo gya common wealth egy’okubeera mu kibuga Birmingham ekya Bungereza. Mayanja okutuuka okuyitawo yabadde mu misinde egy’okusunsulamu abaddusi abanaakiika mu mpaka ez’enjawulo ng’embiro za mmita 1500 yaziddukidde eddakiika 03 sekonda 38 n’obutundu 52. Wadde nga ayiseewo okukiika mu misinde gya
Omuddusi w’embiro ennyimpi eza mmita 800 Abu Mayanja y’omu ku baddusi abakyasembyeyo okuyitawo okukiika mu mizannyo gya common wealth egy’okubeera mu kibuga Birmingham ekya Bungereza.
Mayanja okutuuka okuyitawo yabadde mu misinde egy’okusunsulamu abaddusi abanaakiika mu mpaka ez’enjawulo ng’embiro za mmita 1500 yaziddukidde eddakiika 03 sekonda 38 n’obutundu 52.
Wadde nga ayiseewo okukiika mu misinde gya Africa Senior championships egy’okubeera mu Mauritius okuva nga ennaku z’omwezi 08 -12 omwezi ogwa June wamu n’emizannyo gya Common wealth egy’okubeera mu Birmingham ekya Bungereza okuva nga 28 July okutuuka 08 August , ono akyalwana kuyitawo kukiika mu misinde gy’ensi yonna egya World Athletics Championships egy’okubeera mu Oregon ekya America okuva nga ennaku z’omwezi 15 okutuuka nga 24 omwezi ogwa July.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *