Omuddusi Chemutai awangudde emisinde gya FBK Hengelo Games.

Omuddusi Chemutai awangudde emisinde gya FBK Hengelo Games.

Chemutai abadde addukidde eddakiika 15.14 okumegga banne abalala 15 mu mpaka za FBK Hengelo Games. Kyampiyoni w’ensi yonna mu mizannyo gya Olympics mu z’okubuuka obusenge nga bw’ogwa mu mazzi eza 3000m Steeplechase Peruth Chemutai, awangudde emisinde gya FBK Hengelo Games egiyindidde mu ggwanga lya Netherlands. Chemutai abadde avuganya n’abaddusi abalala 15 mu misinde gino ng’agiddukidde

Chemutai abadde addukidde eddakiika 15.14 okumegga banne abalala 15 mu mpaka za FBK Hengelo Games.

Kyampiyoni w’ensi yonna mu mizannyo gya Olympics mu z’okubuuka obusenge nga bw’ogwa mu mazzi eza 3000m Steeplechase Peruth Chemutai, awangudde emisinde gya FBK Hengelo Games egiyindidde mu ggwanga lya Netherlands.

Chemutai abadde avuganya n’abaddusi abalala 15 mu misinde gino ng’agiddukidde eddakiika 15 n’obutundutundu 14 okufuna obuwaguzi bwe obusoose omwaka guno. 

Bukyanga awangula mizannyo gya Olympics omwaka oguwedde mu Tokyo ekya Japan, Chemutai ebintu bibadde tebimutambulira bulungi mu mbiro za Steeplechase era buno bwe buwanguzi bwe obusoose omwaka guno.

Chemutai agamba obuwanguzi bugidde mu kiseera ekituufu nga yeetegekera emisinde gy’ensi yonna egya World Athletics Championships egy’okubeera mu Oregon ekya Bungereza okuva nga July 15, okutuuka nga July 24, 2022.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *