Bya Jimmy Nteza Erinnya Dorcus Inzikuru lijjukiza bannaUganda omukyala eyasookera ddala okuleeta omuddaali gwa zaabbu mu misinde egy’okudduka nga bwobuka egya mita 3,000, egyali mu Helsinki mu Finland mu 2003 nga gy’amutindo gwansi yonna. Kino kyatundanyo Inzikuru era bangi balina essuuubi nti oba analeeta emiddaali ejiwerako, wabula yayongerayo omuddaali gwa Zaabbu gumu gweyaleeta mu 2006
Bya Jimmy Nteza
Erinnya Dorcus Inzikuru lijjukiza bannaUganda omukyala eyasookera ddala okuleeta omuddaali gwa zaabbu mu misinde egy’okudduka nga bwobuka egya mita 3,000, egyali mu Helsinki mu Finland mu 2003 nga gy’amutindo gwansi yonna. Kino kyatundanyo Inzikuru era bangi balina essuuubi nti oba analeeta emiddaali ejiwerako, wabula yayongerayo omuddaali gwa Zaabbu gumu gweyaleeta mu 2006 mu mpaka za Commonwealth ezaali e Buyindi.
Yakoma ddi okudduka.
Uganda yamuteekako amaaso mu 2005 nga alina emyaka 23, era nga yasembayo okulabikako mu misinde egyali mu Bungereza mu Brighton mu mwaka gwa 2013.
Yassalawo okufumbirwa nga bukyali nekizingamya ekitone kye.

Mu 2008 nga wa myaka 26, Inzikuru yassalawo afumbirwe omwami Martin Acidri (naye yaliko omuddusi) era nebazaala omwana Emmanuela Munguci, naye nga ono bayawukana mu 2012 ate omwaka ogwaddako omwami n’afa. Oluvannyuma yafuna omwami omulala nazaala n’omwana ow’okubiri. Bukyanga atandika ensonga z’obufumbo, emisinde gye gyagwamu.
Ensonga z’ennyumba n’akasente zimuwuuba.
Nga amaze okuleeta omuddaali mu 2005, Inzikuru yasuubizibwa gavumeenti okumuwa ennyumba, ekyatuukirira wadde nga ensangi nnyinji abadde agobaganyizibwa nti yazimbibwa mu kifo kikyamu era nga nensonga ez’okufuna ekyapa kyayo zibadde zimulebuukanya. Ennyumba eno eri mu disitulikiti ye Arya gyazaalibwa. Ono era yasuubizibwa omusaala gwa bukadde 5 buli mwezi naye nga zino yakoma okuzirabako mu mwaka gwa 2017.
Akyalinda motoka okuva mu gavumenti.
Inzikuru ebbanga lyonna abadde yegezaamu okuvuga nga bwalinda okulaba oba naye gavumeenti enatuukiriza nemuwa emotoka nga bweyakoze ku baddusi abakiise mu za Olympics omwaka oguwedde.
Biki byakola mu bbanga wataddukidde?
Yakola Inzikuru Sports Academy etendeka abaana okudduka e Mengo. Eno ekola ne mu mizannyo emirala okuli omupiira, Volleyball n’emirala. Ono era takyawanga misinde, awabera empaka zino naye wabeera nga alabikirannyo e Namboole mu biseera nga waliyo okugezesa abaddusi era anyumirwannyo okumala akaseera ne baddusi banne.
Akyalina essuubi ery’okuddamu okuvuganya.
Wadde nga aweza emyaka 40, Dorcus Inzikuru akyalina essuubi eriddamu okudduka era asuubira nti lunaku lumu aliddamu okuleetera ku Uganda omuddaali wadde nga kizibu nnyo wadde nga emisinde gwe gumu ku mizannyo ejilemesebwa emyaka.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *