Omuggunzi w’eng’uumi Muwonge yeepikira musipi gwa nsi yonna.

Omuggunzi w’eng’uumi Muwonge yeepikira musipi gwa nsi yonna.

Omuggunzi w’eng’uumi Latib Muwonge ‘Dancing Master’ olumaze okusitukira mu musipi gwa Afrika ogwa ABU Super Lightweight title n’awaga bw’azzaako ogw’ensi yonna. Muwonge okuwangula omusipi guno yamze kukuba Mutanzania Clement Albano mu lulwana olwayindidde ku Club Obligato mu wiikendi. Yaluwangulidde ku bubonero 118-112, 115-12 ne 111-117. Ababiri battunkidde lawundi 12 mu lulwana olwabaddeko ne vaawo mpitewo.

Omuggunzi w’eng’uumi Latib Muwonge ‘Dancing Master’ olumaze okusitukira mu musipi gwa Afrika ogwa ABU Super Lightweight title n’awaga bw’azzaako ogw’ensi yonna.

Muwonge okuwangula omusipi guno yamze kukuba Mutanzania Clement Albano mu lulwana olwayindidde ku Club Obligato mu wiikendi.

Yaluwangulidde ku bubonero 118-112, 115-12 ne 111-117. Ababiri battunkidde lawundi 12 mu lulwana olwabaddeko ne vaawo mpitewo.

Albano kati Mutanzania waakusatu Muwonge gwe yakakuba mu myezi esatu egisembye.

Abalala kuliko Ally Mbukwa gwe yakubye omwezi oguwedde ne Ali Mkojani gwe yawutudde mu December w’omwaka oguwedde.

Awamu yaakazannya enwana 9 mu bikonde ebya pulofeesono zonna z’awangudde. Muwonge agamba k’awangudde omusipi gwa Africa obwanga kati abwolekezza misipi minene okuli n’ogwensi yonna.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *