Nakiwala Kiyingi awadde aba Crested Cranes amagezi okwerinda COVID-19 nga beetegekera empaka za CECAFA 2022 CECAFA Women Championship Ng’ebula ennaku mukaaga zokka empaka z’omupiira gw’ekikopo kya CECAFA w’abakazi ziggyibweeko akawuuwo, ssentebe w’akakiiko akategesi, Florence Nakiwala Kiyingi alabudde bannabyamizannyo ku biragiro bya COVID-19. Ku Lwokusatu (May 25), Nakiwala, era nga ye mumyuka owookusatu, owa pulezidenti wa
Nakiwala Kiyingi awadde aba Crested Cranes amagezi okwerinda COVID-19 nga beetegekera empaka za CECAFA
2022 CECAFA Women Championship
Ng’ebula ennaku mukaaga zokka empaka z’omupiira gw’ekikopo kya CECAFA w’abakazi ziggyibweeko akawuuwo, ssentebe w’akakiiko akategesi, Florence Nakiwala Kiyingi alabudde bannabyamizannyo ku biragiro bya COVID-19.
Ku Lwokusatu (May 25), Nakiwala, era nga ye mumyuka owookusatu, owa pulezidenti wa FUFA, yasabye abawagizi okussa mu nkola ebiragiro bya Minisitule y’Ebyobulamu ku COVID-19, baleme kweyibaala nti akendedde.

“Enteekateeka zonna ziwedde, tulinze ssaawa yokka amawanga ag’enjawulo okutuuka mu ggwanga, naye njagala okulabula buli yenna asuubira okujja okuwagira oba okwetaba mu mpaka zino, okujja nga yeetegese okuteeka mu nkola ebiragiro bya Gavumenti bye tuzze tweyambisa okutangira Covid kuba akawuka kakyaliwo,” Nakiwala bwe yalabudde.
Empaka zino, ‘2022 CECAFA Women Championship’, zitandika wiiki ejja nga June 1, zikomekerezebwe nga June 1, ku kisaawe kya FUFA Technical Center e Njeru. Zaakwetabawamu ttiimu munaana okuli; abategesi aba Uganda, Rwanda, Djibouti, Burundi, Tanzania, South Sudan, Ethiopia ne Zanzibar.
Kayingi yakaksizza nga Djibout bw’egenda okutuuka ku Lwokutaano (May 27, 2022) ne Tanzania enkeera ku Lwomukaaga nga May 28.
Uganda eri mu kibinja A omuli; Rwanda, Djibouti ne Burundi, ate ekibinja B mulimu; Tanzania, Zanzibar, South Sudan ne Ethiopia.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *