Omupiira gwa Namasuba ne Masajja guggweeredde mu maliri ga 0-0

Omupiira gwa Namasuba ne Masajja guggweeredde mu maliri ga 0-0

Masajja ne Namasuba beeraze eryanyi oluvannyuma lwa buli omu okulemesa munne okuteeba ggoolo mu mupiira ogwabadde ogwa vaawompitewo nga na guno gwayindidde ku kisaawe kya Lufuka Zana ku Ssande era nga gwawedde 0 – 0 . Omu ka bavujjirizi b’empaka z’omupiira gwa Makindye – Ssabagabo, Youth Cup Akram Lutaaya omwana wa Ssabagabo asuubizza nga bw’atagenda

Masajja ne Namasuba beeraze eryanyi oluvannyuma lwa buli omu okulemesa munne okuteeba ggoolo mu mupiira ogwabadde ogwa vaawompitewo nga na guno gwayindidde ku kisaawe kya Lufuka Zana ku Ssande era nga gwawedde 0 – 0 .

Omu ka bavujjirizi b’empaka z’omupiira gwa Makindye – Ssabagabo, Youth Cup Akram Lutaaya omwana wa Ssabagabo asuubizza nga bw’atagenda ku balekerera nga waakuteeka ssente mu  mpaka zino emyaka gyonna singa Katonda anaaba amuwadde obulamu.

Lutaaya agamba mu mpaka zino yabawa tenti nga abagenyi abakulu balaba omupiira nga omusana tegubookya, nnabawa obutebe, n’ayambaza abali ku kakiiko, nga buli ttiimu okuva mu miruka omunaana yabawa amazzi n’ebbaasa era n’asuubiza okutambula nabo bonna paka ku kamalirizo.

Agamba ekimuwalirizza okukola kino kwe kubeera nti munnabyamizannyo, nga yazannyirako ne mu Villa ento, ate ekirala ebyemizannyo biyamba abavubuka obutabeera ba kireereesi ate beegatte.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *