Omuteebi eyasinze mu liigi y’okubaka ayitiddwa ku She Cranes

Omuteebi eyasinze mu liigi y’okubaka ayitiddwa ku She Cranes

OMUZANNYI wa kkiraabu y’okubaka eya Makindye Weyonje Asina Kabendela nga ye muteebi eyalidde mu banne akendo mu liigi y’okubaka eya National Netball league, kyaddaaki Katonda ayanukudde okusaba kwe bw’ayitiddwa ku ttiimu y’eggwanga ey’okubaka eya She Cranes. Kabendela yamazeeko liigi y’okubaka ne ggoolo 804 ng’ abadde yeesunga kimu kyokka kyakuyitibwa ku ttiimu ya ggwanga. “Ekirooto kyange

OMUZANNYI wa kkiraabu y’okubaka eya Makindye Weyonje Asina Kabendela nga ye muteebi eyalidde mu banne akendo mu liigi y’okubaka eya National Netball league, kyaddaaki Katonda ayanukudde okusaba kwe bw’ayitiddwa ku ttiimu y’eggwanga ey’okubaka eya She Cranes.

Kabendela yamazeeko liigi y’okubaka ne ggoolo 804 ng’ abadde yeesunga kimu kyokka kyakuyitibwa ku ttiimu ya ggwanga.

“Ekirooto kyange kyakuzannyira ku ttiimu ya She Cranes era ke nfunye omukisa oguyitibwa ng’enda kukola kyonna ekisoboka okulaba nga nsigala ku ttiimu nsobole okukiikirira eggwanga mu mpaka ez’enjawulo,” Kabendela bwe yategeezezza.

Abalala abazannyi abaayitiddwa okuva mu ttiimu ya Makindye Weyonje kuliko kaputeeni wa Weyonje Shakira Nassaka n’omuzibizi Faridah Kadondi.

Ttiimu ya She Cranes esuubirwa okutandika okutendekebwa mu Makati g’omwezi guno ogwa April nga yeetegekera emizannyo gya Commonwealth egy’okubeera mu Birmingham ekya Bungereza okuva nga July 28 okutuuka nga August 8.

userad
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *