Omutendesi  Bbosa akaligiddwa emipiira ebiri.

Omutendesi  Bbosa akaligiddwa emipiira ebiri.

Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA kikalize omutendesi Wasswa Bbosa owa club ya Gaddafi egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, emipiira 2 nga takola mirimu gya club eno olw’obusiwuufu bw’empisa. Wasswa Bbosa avunaanibwa okwagala okugwa ddifiri mu malaka n’okumuwerekereza ebisongovu, eyalamula omupiira nga Gaddafi ng’ettunka ne Wakiso Giants mu kisaawe kya

Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA kikalize omutendesi Wasswa Bbosa owa club ya Gaddafi egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, emipiira 2 nga takola mirimu gya club eno olw’obusiwuufu bw’empisa.

Wasswa Bbosa avunaanibwa okwagala okugwa ddifiri mu malaka n’okumuwerekereza ebisongovu, eyalamula omupiira nga Gaddafi ng’ettunka ne Wakiso Giants mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu e Wakiso.

Bbosa okuva mu mbeera yali awakanya peneti eyawebwa Wakiso Giants.

Emipiira 2 Bbosa gyatagenda kubeera na ttiimu kuliko ogwa leero nga Gaddafi FC bweneeba ettunka ne KCCA  e Lugogo,  ate ne bwenabeera ettunka ne Vipers ku Sunday eno mu kisaawe e Kakindu Jinja.

Mungeri yeemu FUFA era eragidde Wasswa Bbosa okusasula engasi yansimbi akakadde kamu, ate era siwakuddamu kukola mirimu gya club eno okutuusa ng’asasudde ensimbi zino.

Gaddafi FC eri mu kifo kya 8 ku ttiimu 15 n’obubonero 12 okuva mu mipiira 8.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *